Omulambo gw’omukyala omukadde ow’emyaka 95 guzimbiridde aba ffamire ye oluvannyuma lw’okulemera kungulu kati wiiki nnamba bukyanga afa okumuziika kukyalemye. Kigambibwa nti omugenzi yaleka ekiraamo ekikambwe eky’obutaziikibwa okutuusa nga Ekereziya Katolika ebawadde ekyapa kye kye yagiteresa. Maria Thereza Nakibuuka 95, ng’abadde mutuuze ku kyalo Nakuwadde Bbira-Lubanyi mu disitulikiti y’e Wakiso omulambo gwe guzimbiridde aba ffamire ng’entabwe […]