Omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y’e Buvuma (RDC), Jackeline Kobusingye Birungi ng’ali wamu n’aduumira poliisi mu bizinga by’e Buvuma Micheal Bagoole balabudde okuggalira n’okukangavvula abantu bonna abaneekiika mu nteekateeka ya gavumenti ey’okugema omusujja gw’enkaka. Okugema omusujja gw’enkaka (Yellow Fever) kwatandise ku Lwokubiri nga April 2 nga kugenda kutambula okutuuka nga April 8, nga kutambudde mu […]