BYA BRENDA NANZIRI Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alambudde ebitongole by’Obwakabaka ebikakkalabiza emirimu gyabyo ku kizimbe kya Muganzirwazza e Katwe mu kibuga Kabaka eky’e Kampala. Mu bitongole Katikkiro by’alambudde kuliko, Weerinde Insurance Brokerage Services Ltd, K2 Telecom, Namulondo Investment Ltd, ne Mmwanyi Terimba Ltd. Okulambula kuno kugendereddwamu okumanya abakozi abaddukanya emirimu gy’ebitongole bino, n’okwongera […]