Obwakabaka bwa Buganda buguddemu encukwe oluvannyuma lw’okuseerera kw’omulangira Daudi Golooba ng’ono y’omu ku baana ba Ssekabaka Edward Muteesa II. Omulangira Golooba Omutonzi amujjululidde mu ddwaliro lya St. Francis e Nsambya olwa leero nga February 23, 2025. Amawulire g’okuseerera kw’Omulangira gategeezeddwa Obuganda okuva wa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ng’ayita ku mikutu gi mugatta bantu. […]