Kkooti ya Kisekwa evunaanyizibwa okusala emisango mu bika by’Abaganda ewadde ensala ku musango ogukwata ku Kasolya mu kika ky’Emmamba. Omutaka James Mubiru Zziikwa V, ono nga ye Gabunga ow’omulundi ogwa 38, kkooti ekakasiza nti ye Gabunga omutuufu era ye musika wa Yosiya Kasozi. Ensala ya kkooti eraga nti; abawawaabirwa omuli Dr. Adams Kimala […]