“Kyewuunyisa nnyo okulaba nga Nambooze ku birungi by’afunye mu gavumenti ya NRM ekulemberwa Pulezidenti Museveni ng’akyasobola okuvaayo n’ayimirira ku kadaala n’avuma Museveni nga bw’akola nga takwatiddwa wadde ku nsonyi,” Speaker Among bwe yagambye. Sipiika wa Palamenti, Nnaalongo Annet Anita Among yakawangamudde bwe yategeezezza wakati mu lujjudde lw’abantu era mu maaso ga Pulezidenti Museveni nti lwa […]
Oluvannyuma lwa palamenti ya Uganda okuyisa ekiteeso ekiggyawo ekitongole ekibadde kivunaanyizibwa ku kutumbula omutindo gw’emmwanyi n’okuzirabirira ekya UCDA, Obwakabaka bwa Buganda buvuddemu omwasi nga bugamba nti wadde byonna bikoleddwa, tebugenda kupondooka ku nsonga y’okukunga abantu mu Buganda n’ebweru waayo okulima emmwanyi. Omumyuka wa Katikkiro wa Buganda ow’okubiri, Robert Wagwa Nsibirwa agambye nti tekikyali kya nkiso, […]
Bya Tonny Evans Ngabo Akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu disitulikiti y’e Wakiso kawagidde ebbago eriri mu bubage nga lino ligendereddwamu okulaba nga Bannayuganda babeera n’eddembe ku mmere n’eby’okunywa erimanyiddwa nga Food and Nutritional Bill 2024. Mu kiseera kino, omubaka wa palamenti oqa Kigulu South Milton Muwuma yatandika dda okwebuuza ku Bannayuganda ku tteeka erigendereddwamu okusitula omutindo […]
Oluvannyuma lwa palamenti okuyisa ng’eggyawo ekitongole ekivunaanyizibwa ku kulungamya omutindo gw’emmwanyi ekya Uganda Coffee Development Authority (UCDA) nga kigattibwa ku minisitule y’eby’obulimi, obwakabaka bwa Buganda bubuddeyo ne bulaga okunyolwa olw’ensonga eno. Katikkiro Charles Peter Mayiga avumiridde eky’okuggyawo ekitongole ky’emmwanyi ki UCDA ekyayisiddwa Palamenti olunaku lw’eggulo n’ategeeza nti tewali kubuusabuusa ekyakoleddwa kyakoleddwa kubonereza Baganda. Mu […]
| KYAGGWE TV | MUKONO | Ng’ensonga y’obwerufu eteereddwa ku mwanjo ensangi zino naddala ku ludda olw’ababaka ba palamenti abagambibwa okuba nti eby’okuteeseza abalonzi n’okuyisa amateeka baabivaako kati bakozesa palamenti kwegabanya musimbi, bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) e Mukono bakunguzza ensonga z’omubaka w’ekibuga ky’e Mukono mu palamenti, Betty Nambooze Bakireke ne bazikuba mu woofiisi […]
