Omubaka wa Paapa eyawummula, Ssaabasumba Augustine Kasujja asoomoozezza bannaddiini abamu abatandise okuva ku mulamwa gw’okubuulira enjiri ya Katonda agatta abantu n’okubalyowa emyoyo ssaako okubakulaakulanya nga kati bano batandise kusimba makanda ku by’obufuzi ebyawulayawula mu bantu ky’agamba nti si kituufu. Ssaabasumba bino yabituuseeko bwe yabadde akulembeddemu ekitambiro kya mmisa e Kisubi ku kigo kya Sisters of […]