Omubaka wa Paapa Alabudde Bannaddiini Abayingiridde Eby’obufuzi Ebyawulayawula mu Bantu

1 minute, 30 seconds Read

Omubaka wa Paapa eyawummula, Ssaabasumba Augustine Kasujja  asoomoozezza bannaddiini abamu abatandise okuva ku mulamwa gw’okubuulira enjiri ya Katonda agatta abantu n’okubalyowa emyoyo ssaako okubakulaakulanya nga kati bano batandise kusimba makanda ku by’obufuzi ebyawulayawula mu bantu ky’agamba nti si kituufu.

Ssaabasumba bino yabituuseeko bwe yabadde akulembeddemu ekitambiro kya mmisa e Kisubi ku kigo kya Sisters of the Immaculate Heart of Mary Repatatrix e Gogogonya ku mukolo Ababiikira munaana kwe baakubidde ebirayiro byabwe eby’olubeerera, ate bana ne baddamu okukuba ebirayiro oluvannyuma lw’okuweza emyaka 60 mu buweereza sso nga bataano bazzeemu okukuba ebirayiro oluvannyuma lw’okuweza emyaka 50 mu Bunnaddiini ng’ate babiri bbo bazzeemu okukuba ebirayiro oluvannyuma lw’okumala emyaka 25 mu buweereza.

Ssaabasumba Kasujja mu ngeri y’emu yavumiridde n’ettemu erisuukkiridde wamu n’abantu abattattana ekitiibwa ky’abalala nga baboogerera ebitaliko mitwe na magulu.

Ye Sr. Dr. Maria Sepiranza Namusisi nga ye Nnankulu w’ekibiina ky’Ababiikira kino yakubirizza abazadde okukkiriza okuwaayo abaana baabwe bayingire ekibiina basome bafuuke Ababiikira basobole okwegatta  ku ggye  erinaasobole okulwanyisa wamu n’okukendeeza ku bikolwa eby’ekko ebiyitiridde mu ggwanga.

Pictorial: Sixteen Little Sisters Celebrate Golden, Silver Jubilee in Service

Dr. Namusisi yagambye nti n’obuweereza bwe bakola mu bitundu mwe baweerereza bukyetaaga abantu bangi wadde ng’ate mu kiseera kino abazadde abamu bagaana abaana baabwe ne bwe babeera nga bbo bafunye okulungamizibwa n’okuyitibwa kye yagambye nti si kituufu.

Mu ngeri y’emu, ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr Matia Lwanga Bwanika naye yasinzidde ku mukolo guno n’asiima omulimu ogukolebwa Bannaddiini mu ggwanga nga balwanirira obwenkanya n’okutumbula obuntu bulamu mu bannansi.

Ekitambiro kya missa kino kyetabiddwako Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere, Ssaabasumba w’essaza lya Kiyinda-Mityana era nga ye ssentebe w’Abepisikoopi mu ggwanga, Bp. Anthony Zziwa, ne bannadiini abalala bangi.

Hajjat Buzeki Swears In As KCCA Director 

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!