Nnamungi w’omuntu yeeyiye mu bungi mu kusaba kw’okumalako omwaka 2024 n’okuggulawo omupya ogwa 2025 ku kkanisa y’omusumba Wilson Bugembe eya The Worship House e Nansana. Pr. Bugembe yasabidde abantu omwaka bagufuniremu ebirungi bingi omuli okuzimba ennyumba, okufuna ensimbi baweerere abaana baana baabwe, okugula emmotoka ez’ebirooto byabwe, okukola bbizinensi n’okuwona ebirwadde ebibatawaanya n’ebirala bingi. Okusinziira ku […]
Waabaddewo obunkeke ku Ssande ku makya ab’eby’okwerinda ab’alwanyisa obutujju n’okutega bbomu bwe baasanzeeko amakanisa ag’enjawulo mu bitundu mu munisipaali y’e Nansana nga bateebereza nti wandibeerawo abaagatezeemu bbomu. Bano baalemesezza abantu abaabadde bakedde okugenda mu kusaba okuyingira mu makanisa ne bagasalako n’embwa ezikonga olusu ne bayaza buli wamu ng’embeera eno yatadde abakkiriza ku bunkenke n’abasumba abatwala […]