Nnamungi w’omuntu yeeyiye mu bungi mu kusaba kw’okumalako omwaka 2024 n’okuggulawo omupya ogwa 2025 ku kkanisa y’omusumba Wilson Bugembe eya The Worship House e Nansana.
Pr. Bugembe yasabidde abantu omwaka bagufuniremu ebirungi bingi omuli okuzimba ennyumba, okufuna ensimbi baweerere abaana baana baabwe, okugula emmotoka ez’ebirooto byabwe, okukola bbizinensi n’okuwona ebirwadde ebibatawaanya n’ebirala bingi.
Okusinziira ku bazze bamalirako omwaka mu kifo kino emyaka egiyise, baategeezezza nti kino kikyaludde okubeerawo abaasusse obungi ekyawalirizza n’abasirikale okukoma ku bantu abaabadde bayingira.
Zaagenze okuwera ssaawa ttaano ez’ekiro ng’abantu bakyasimbye enyiriri okuyingira mu kibangirizi ky’ekkanisa ewaategekeddwa era Omusumba Bugembe yayingiddewo nga wabula eddakiika ttaano omwaka guggweko era wano we yalinnyidde ekituuti olwo n’atandika okubala eddakiika.
Abayimbi ab’enjawulo baakooloobezza ennyimba era Pr. Bugembe yaleese oluggi ku kituuti okulaga abantu nti omwaka 2024 oluggi lukyali luggale nga bwe zaaweze essaawa mukaaga n’aggulawo oluggi n’alangirira omwaka 2025 wano ne batulisa ebiriroliro mu bbanga enduulu n’etta abantu.
Wano Pr. Bugembe yalagidde abantu okuteekako ttooki z’essimu zaabwe ng’akabonero akalaga nti omwaka baguyingira na kitangaala wakati mu kuyimba ennyimba ezisinza Katonda era wano yakutte omukeeka n’agukasuka mu bbanga n’akulisa abantu okuyita mu mwaka omukadde sso ng’era yabaanirizza mu mwaka omupya.
Omusumba Bugembe yalagidde abantu okufukamira wansi era n’ategeeza nga Mukama Katonda bwamuliko nti “Bannange nz’ani ayimbye mu Nkuuka Ssaabasajja Kabaka mw’abadde,” ng’ono era yasabye Mukama Katonda awangaaze Kabaka era naye n’afukamira wansi n’asabira abantu omukisa.