BYA KYAGGWE TV | MUKONO | Kkwaya z’Abadiventi ez’enjawulo okuli n’evudde mu Austria zikungaanidde ku kitebe ky’obulabirizi bwa East Buganda obwakatongozebwa mu kukuza olunaku lw’okuyimba mu bulabirizi muno. Bano bakungaanidde ku kkanisa ya Mukono Central SDA Church esangibwa mu kibuga Mukono mu kusinza kwa ssabbiiti. Kkwaya zino ziyimbye ennyimba ez’enjawulo ezitendereza omutonzi nga Wave Choir […]