“Kyewuunyisa nnyo okulaba nga Nambooze ku birungi by’afunye mu gavumenti ya NRM ekulemberwa Pulezidenti Museveni ng’akyasobola okuvaayo n’ayimirira ku kadaala n’avuma Museveni nga bw’akola nga takwatiddwa wadde ku nsonyi,” Speaker Among bwe yagambye. Sipiika wa Palamenti, Nnaalongo Annet Anita Among yakawangamudde bwe yategeezezza wakati mu lujjudde lw’abantu era mu maaso ga Pulezidenti Museveni nti lwa […]
Omukulembeze w’eggwanga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni awadde Bannayuganda essuubi ly’okumalawo ebbula ly’emirimu bw’ategeezezza nti agenda kubunyisa enjiri y’okulimira n’okulundira awafunda kubanga akizudde nti ekolera ddala. Wano Museveni anokoddeyo omulunzi era omulimi w’e Fort Portal, Richard Nyakana awadde obujulizi nti ayingiza obukadde bw’ensimbi 180 omwaka okuva ku yiika emu gy’akozesa. Pulezidenti agamba ssinga abantu bava mu […]
Abavubuka abawangaalira mu bifo ebyakazibwako erya Ghetto mu bifo eby’enjawulo mu disitulikiti y’e Mukono essanyu balina lya mwoki wa gonja oluvannyuma lw’omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni okubayiwamu ensimbi obukadde 100. Dickson Mazinga Ssaalongo nga y’akulembera ebibiina bya Ghetto mu disitulikiti y’e Mukono ategeezezza nti wadde n’abamu ku bavubuka be bakulembera babadde baagala kubajjamu bwesigye nga […]
BYA TONNY EVANS NGABO | BUKASA-KIRA | KYAGGWE TV | Abakungu okuva mu minisitule y’enguudo n’emirimu baasanze akaseera akazibu okumatiza abatuuze b’e Bukasa ekisangibwa mu munisipaali y’e Kira ku nsonga y’okubasengula nga tebalinze na kubaliyirira. Bano baabadde bagenze kubawa nsalessale wa ssabbiiti emu yokka nga bavudde mu kifo kino olwo basobole okuwa gavumenti ekyanya okutandika […]
