Ng’abulako katono n’amaziga gamuyitemu, Ssentongo yagambye nti okumala emyaka egiwera, Col. Ssegujja azze amuliisa akakanja nga kuno kw’ateeka okumusibako ebigambo ebigendererwa okumusiiga enziro n’okumukkakkanya mu bantu b’akulembera. Ssentebe w’eggombolola y’e Kasawo mu disitulikiti y’e Mukono, Rajab Ssentongo Mukasa yeekubidde enduulu eri omuduumizi w’ekibinja ky’amagye ki First Infantry Division, Maj. Gen. Steven Mugerwa ng’ayagala amutaase ku […]