Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo atongozza bboodi empya eya bbanka y’obulabirizi bw’e Mukono eya Mukono Diocese SACCO (MUDISACCO). Bp. Kagodo abakulembeze abaggya abalondeddwa abakunze okubeera abeerufu, abaayiiya era abeetefu okugatta omutindo ku bbanka eno okuyita mu kuteekawo engeri ez’enjawulo ezinaasikiriza Abkulisitaayo mu bulabirizi okugyegattako batandike okutereka n’okwewola ensimbi, bakole basobole okukulaakulana. Bannakibiina kya […]