Bp. Kagodo Atongozza Okuzimba Lutikko y’e Mukono Empya

2 minutes, 18 seconds Read

Omulabirizi w’Obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo atongozza kaweefube w’okuzimba Lutikko ya Mukono ey’Abatukuvu Firipo ne Ndereya empya.

Kagodo asinzidde mu kusaba okutegekeddwa mu Lutikko enkadde mu ttuntu lya leero ku Lwokusatu n’ategeeza nti oluvannyuma lwa Lutikko eno eyazimbibwa emyaka egikunukkiriza mu 90 mu mwaka gwa 1936 okuba ng’efunze tekyamala, obulabirizi bwasazeewo okuzimba empya enaaba ey’omulembe ennyo ate nga nnene ekimala.

Lutikko empya nga bw’enaafaanana.

Omulabirizi alaze ekifaananyi kya Lutikko empya n’atongoza enteekateeka ey’okusonderako ensimbi ezisoba mu buwumbi 15 ez’okugizimba.

Ono alagidde nti buli Mukulisitaayo omubatize mu bulabirizi bw’e Mukono n’ebweru waayo abakulu n’abato waakusasula entandikwa ya mitwalo egitakka wansi w’ebiri nga zino baluubiridde nti Abakulisitaayo abasoba mu mitwalo ebiri n’ekitundu we bannaggwerayo, baakuba n’obukadde obusoba mu 500 olwo ate balabe bwe baddamu okubayitamu.

Lutikko empya nga bw’enaafaanana munda.

“Mu nteekateeka eno, ffamire yaakusasula emitwalo ebiri ebiri ku bbuli mmemba waayo n’abato abakyaayonka. Tubadde tweyagalira mu Lutikko eno eyazimbibwa emyaka mingi bajjajjaffe ng’oluusi abasing ku ffe n’okuzaalaibwa tetunnazaalibwa. Kye kiseera naffe tulage amaanyi nga tuzimba eyaffe ey’omulembe guno ate enaabeerawo ng’ekola emyaka 100 egiggya mu maaso,” bw’ategeezezza.

Bp. Kagodo agaambye nti basuubira nti Lutikko eno yaaaakuwemmenta ensimbi ezisoba mu buwumbi 15 ng’omusingi gwayo gwakusimibwa ku ntandikwa y’omwaka ogujja mu February ng’obulabirizi bw’e Mukono bukuzaa okuweza emyaka 39 bukyangaa bwetongola okuva ku bw’e Namirembe.

Bp. Kagodo ng’ayogera eri ab’amawulire.

Ssaabadinkoni w’e Lugazi, Canon Edward Kironde Balamaze ku lwa bammemba abali ku lukiiko oluzimbi akunze Abakulisitaayo mu bulabirizi buno okusitukiramu baggye ensonga ya Lutikko mu ddiiro.

“Buno buvunaanyizibwa bwa buli Mukulisitaayo mu bulabirizi bwaffe obw’e Mukono, nga bwe tubaddenga tukwatizaa ewamu ku nsonga ez’enjawulo, ne ku mulundu guno mbasaaba tukwatize wamu abalala we banaatusanga,” Canon Balamaze bw’ategeezezza.

Omukubiriza w’Abakulisitaayo mu bulabirizi bw’e Mukono, Herbert Bataamye agambye nti omulimu gw’okuzimba Lutikko eno basuubira mu gwakuggwa mu bbanga lya myaka ena gyokka.

Abakulisitaayo nga batongoza okusonda ensimbi ez’okuzimba Lutikko.

Abakulisitaayo aabeetabye mu kusaba kuno bettanidde okuwaayo ensimbi zaabwe n’ab’omunnyumba zaabwe nga bano bakulembeddwa Omulabirizi Kagodo yennyini mu nnamba esooka, eyali omuwanika wa Buganda, Eva Nagawaa, omulamuzi wa kkooti enkulu eyawummula, Lameka Mukasa, omumyuka w’omukubiriza w’obulabirizi, Sarah Kigongo, abasumba, ba Ssaabadinkoni, ababuulizi n’abakulusitaayo abasigadde.

Yawe Herbert Kabanda ku lw’olukiiko olukunga ategeezezza nti baaamaze okukola enteekateeka nga bagenda kufulumya enteekateeka entongole ez’okusonda ensimbi zino omuli n’emikutu gya Mobile Money n’e akawunti ya bbanka.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!