Amyuka omubaka wa gavumenti mu kibuga Mukono, Rodha Tiitwe Kagaaga alabudde abaliko obulemu okukomya okwekubagiza olw’obulemu mwe bali wabula bakozese buli kakisa gavumenti k’ebateereddewo okulwanyisa obwavu. Abo abalabirira abaana abaliko obulemu RDC Kagaaga abawadde amagezi obutakozesa nsimbi zibaweereddwa kukola mirimu ate kuzizza mu kuijjanjaba baana nga tebannaba kuzizazaamu, wabula bamale okuzikozesa emirimu olwo bakozese amagoba […]