Minisita omubeezi ow’eby’ettaka Sam Mayanja alaze obutali bumativu olw’ekkanisa okumenya amayumba g’abatuuze n’okusendawo ebibanja byabwe n’ezimba ekkanisa galikwoleka. Obutali bumativu Minisita Mayanja yabulagidde ku kyalo Kirangira ekisangibwa mu Mukono Central divizoni mu munisipaali y’e Mukono abatuuze bwe baamukaabidde amaziga mu maaso nga bagamba nti omusumba atwala ekkanisa ya St. Luke e Kirangira, Rev. Rogers Kityo […]