Abaweereza mu kkanisa ku mitendera egy’enjawulo mu bulabirizi bw’e Mukono beekubidde enduulu eri omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni ne bamusaba ayambe ensi akome ku Minisita omubeezi ow’eby’ettaka Sam Mayanja gwe bagamba nti asusse okulengezza bakulembeze banne nga kati asitukidde mu b’ekkanisa. Bano bagamba nti Minisita Mayanja n’ekolaye ey’emirimu etuuse okwongera okudibaga emisango gy’ettaka n’enkaayana kuba […]