BYA TONNY EVANS NGABO Klezia eri ku kaweefube wa kunoonya obuwumbi bw’ensimbi za Uganda butaano n’ekitundu okumaliriza omulimu gw’okuzimba essomero lya Namagunga Boarding and Primary School ettabi ly’e Kitende mu disitulikiti y’e Wakiso. Mu kutongoza omulimu guno e Kitende ku Ssande, Sr. Mary Assumpta Babirye omukulu w’essomero yagambye nti oluvannyuma lw’okuwummula ng’omukulu w’essomero li nnansangwa […]