Bya Abu Batuusa Ab’oluganda beekyaye ne bagoba omusika eyasikira kitaabwe ku busika lwa kutunda bya bugagga bye baabalekera n’okumenyawo ennyumba kitaabwe gye yalekawo ng’amaka ag’okukungaaniramu. Bano baawandise ekiwandiiko ne kisomebwa mu lukiiko olwakubiriziddwa ssentebe w’ekyalo. Bino byabadde ku kyalo Tula-Kawempe mu munisipaali y’e Nansana. Gwe babisibidde ku nnyindo ne bamutwala n’ekisubi ku liiso okuva ku […]