Rev. Abel Sserwanja Merewooma abadde omusumba w’obusumba bw’e Kitegoba mu busaabadinkoni bw’e Gayaza eyagobeddwa mu buweereza Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Namirembe, Moses Banja ensonga zongedde okumwonoonekera, ate Yunivasite ya Uganda Christian University (UCU) gye yasomera eby’eddiini nayo bw’emuvuddemu n’esazaamu obuyigirize bwe. Okusinziira ku muwandiisi w’obulabirizi bw’e Namirembe, Rev. Canon Henry Ssegawa, mu bbaluwa egoba Rev. Merewooma […]