Ensonga Za Rev. Merewooma Zikyalanda: UCU Esazizzaamu Dipulooma Gye Yasomerayo!

2 minutes, 33 seconds Read

Rev. Abel Sserwanja Merewooma abadde omusumba w’obusumba bw’e Kitegoba mu busaabadinkoni bw’e Gayaza eyagobeddwa mu buweereza Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Namirembe, Moses Banja ensonga zongedde okumwonoonekera, ate Yunivasite ya Uganda Christian University (UCU) gye yasomera eby’eddiini nayo bw’emuvuddemu n’esazaamu obuyigirize bwe.

Okusinziira ku muwandiisi w’obulabirizi bw’e Namirembe, Rev. Canon Henry Ssegawa, mu bbaluwa egoba Rev. Merewooma gye yawandiika nga November 29, 2024, eraga nti abakulu mu UCU baasazaamu obuyigirize bw’omusajja wa Katonda obwa ddipulooma mu ddiini.

Bp. Kagodo Asembezza Rev. Mereewooma Eyagobeddwa e Namirembe!

Bano ensonga gye baawa kwe kuba nti Rev. Merewooma ebiwandiiko bye yawaayo okuyingira mu UCU okusoma okufuuka omusumba byali bijingirire nga na bwe kityo, amateeka agafuga yunivasite kino gakigaana ng’era y’ensonga lwaki baasalawo okusazaamu obuyigirize bwe yafuna.

Ebbaluwa Rev. Canon Ssegawa gye yawandiika ng’agoba Rev. Merewooma eraga nti;

“UCU yatuwandiikira ng’etutegeeza nga bwe yasazaamu ddipulooma gye wafuna mu ddiini nga balaga nti wagingirira ebiwandiiko bye wakozesa ng’oyingira okusoma. Wasabi ekiseera okuleeta ebiwandiiko ebisazaamu ebyo ebyatuweebwa aba UCU naye ekiseera kye wasabi kyaggwako nga tolina ky’ovuddeyo nakyo kya njawulo.”

Eyongera okulaga nti ssinga ebbaluwa ewa Omusumba yenna obusumba esazibwamu, omuntu oyo aba takkirizibwa kuddamu kuweereza mu kkanisa yonna eri wansi w’ekkanisa ya Uganda.

Abakulisitaayo Bajjumbidde Okusaba Kwa Ssekukkulu e Mukono

Bwe twamutuukiridde okubaako ky’ayogera ku nsonga zino, omwogezi wa UCU, Harriet Adongo yategeezezza nti tayinza kubaako ky’ayogera nga tali mu woofiisi nga mu kiseera kino ali mu ggandaalo lya ssekukkulu.

Ensonda enneekusifu mu bulabirizi bw’e Namirembe ziraga nti waliwo ebikonge eby’enjawulo ebyatuukiridde Bp. Banja nga bimusaba addiremu Rev. Merewooma nga beesigamye ku ky’okuba nti ekkanisa emu ku mpagi kw’erimiridde ye y’okusonyiwa naye nti mu kwanukula, Omulabirizi yagambye nti okukola ekyo kijja kuba kikontana n’omusungi ekkanisa kw’eyimiridde ogw’amazima n’obwerufu ssaako eky’okuba nti yunivasite ya UCU ng’eno nayo ya kkanisa nti teyinza kusazaamu buyigirize bwa muntu olw’okukizuula nti yakola okugingirira ebiwandiiko ate ye ng’omulabirizi asigaze omuntu y’omu oyo atakyalina biwandiiko bya buyigirize.

Wabula ebyo nga bikyali awo, ye omulabirizi w’obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo yayingizza Rev. Merewooma ng’omusumba mu bulabirizi bw’e Mukono. Bp. Kagodo yawandiise ebbaluwa eyingiza Merewooma nga December 23, 2024 era n’alaga nti ono agenda kuba akolera mu woofiisi y’omulabirizi wansi w’ekitongole ekiteekerateekera obulabirizi n’okubukulaakulanya ssaako okuyambako ng’omuweereza mu Lutikko y’Abatukuvu Firipo ne Ndereya.

Okugobebwa kwa Rev. Merewooma okuva mu buweereza e Namirembe kwasaanudde Abakulisitaayo mu busumba bw’e Kitegomba ne boogerera Bp. Banja ebisongovu. Bano baagambye nti baabadde balabye omulamwa ogw’amaanyi mu Merewooma nga mu bbanga ery’emyezi esatu gyokka gy’abakozeemu, abadde atandise okuzimba ekkanisa n’ennyumba y’omusumba.

Ye mu bulabirizi bw’e Mukono, nayo Abakulisitaayo beekutuddemu ng’abamu wadde tebannavaayo mu lwatu, waliwo abatasanyukidde kya Bp Kagodo kusembeza musumba eyagobeddwa mu bulabirizi bw’e Namirembe olw’ensonga nti yagingirira ebiwandiiko by’obuyigirize.

Wabula abalala bbo basanyufu nga bagamba nti obulabirizi bw’e Mukono bufunye omuweereza ow’enkulaakulana ate omukozi.

Omuliro e Namirembe! Bp. Banja Agobye Rev. Mereewooma Abakulisitaayo ne Batabuka!

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!