Bp. Bbanja Asitukidde mu Gavumenti ku Bubbi Bw’ettaka Okufuuse Ekigenge Ekitawona

BYA TONNY EVANS NGABO KIRA | KYAGGWE TV | Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Namirembe kitaffe mu Katonda Moses Banja mwenyamivu olw’emivuyo egigenda mu maaso mu Minisitule y’eby’ettaka mu ggwanga ng’agamba nti gino gye giviiriddeko ekibba ttaka okwongera okwegiriisa ng’ekigotta entula. Bp. Banja agamba nti egimu ku mivuyo egikudde ejjembe kwe kufulumya ebyapa ebisoba mu kimu ku […]

Aba South Korea Baakuzimba Essengejjero Lya Kazambi e Wakiso lya Buwumbi 10

BYA TONNY EVANS NGABO WAKISO | KYAGGWE TV | Disitulikiti y’e Wakiso emalirizza enteekateeka z’okuzimba ekifo ewagenda okulongoosebwa kazambi e Namulonge mu divizoni y’e Busukuma mu munisipali y’e Nansana. Okusinziira ku bakulembeze, essengejjero lya kazimbi lino lyakuwemmenta obuwumbi bw’ensimbi obusoba mu 10. Minisitule y’eby’amazzi n’obutondebwensi mu ggwanga bw’ebadde mu nsisinkano n’abakulembeze ba disitulikiti y’e Wakiso […]

Eyali Ssaabawolereza wa Buganda Alabudde ku Nkwata Y’enkaayana ku Ttaka

BYA TONNY EVANS NGABO | WAKISO | KYAGGWE TV | Gavumenti erabuddwa nti singa teteeereza nkaayana wamu n’emivuyo egiyitiridde ku ttaka naddala mu bitundu bya Buganda, eby’enfuna by’eggwanga byolekedde okudobonkana.   Okulabula kuno kukoleddwa eyaliko Ssaabawolereza wa Buganda era nga yali Minisita w’essiga eddamuzi ne ssemateeka mu mwaka gwa 1977 munnamateeka Godfrey Sserunkuuma Lule. Sserukuuma […]

Aba St. Jude Wakiso Beeteekerateekera Misinde Mwe Banaasondera Ez’okuzimba Klezia

BYA TONNY EVANS NGABO | WAKISO | KYAGGWE TV | Enteekateeka z’okudduka  emisinde mubuna byalo  egitegekeddwa ekigo kya St. Jude ziwedde nga gyakubeerawo ku Lwomukaaga lwa wiiki eno nga August 3, 2024. Emisinde gino gigendereddwamu okusonda ensimbi ez’okuzimba Klezia empya ng’omulimu guno gugenda kutwala ebbanga lya myaka esatu nga gutojjera. Bwanamukulu wa St. Jude Catholic […]

Naye Ddala Ani Akkiriza Abantu Okuzimba mu Ntobazzi? Omubaka Naluyima Bimusobedde!!!

BYA TONNY EVANS NGABO | Kaazi | KYAGGWE TV | Mu kiseera ng’abantu mu bitundu by’e Nansana bakyakaaba omuli n’abamu ne gye buli kati abatannafuna we beegeka luba oluvannyuma lw’ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw’ensi omuli n’entobazzi mu ggwanga ekya NEMA okuvaayo ne kibamenyera amayumba n’ebintu byonna ebyali mu lutobazzi lw’omu Lubigi mu disitulikiti y’e Wakiso, […]

Bassentebe B’ebyalo Babanja Musaala – Mbu N’omutwalo Ogwa Buli Mwezi Gulemeddeyo!

BYA TONNY EVANS NGABO | BUSSI | KYAGGWE TV | Bassentebe b’ebyalo mu ggombolola y’e Bussi mu disitulikiti y’e Wakiso batabukidde gavumenti olw’okubakandaaliriza okubasasula ensimbi omutwalo mutwalo ogwa buli mwezi gw’ebasasula olw’obuweereza bwe bakola mu bitundu byabwe. Bano bagamba nti okumala omwaka mulamba, tebafuna wadde ekikumi ky’ensimbi nga kati y’ensonga lwaki basazeewo okusitula ku ddoboozi […]

Omubaka Naluyima Mwennyamivu Olw’abazadde Abatakyafa ku Baana Balenzi

BYA TONNY EVANS NGABO | NAALYA | KYAGGWE TV |  Omu ku babaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akavunaanyizibwa ku nsonga z’abaana agamba nti ssinga tewabeerawo kikolebwa ku nsonga y’abaana abalenzi abatakyafiibwako ng’abazadde essira balitadde ku baana bawala, eggwanga lyolekedde okufuna omulembe gw’abaami abatalimu nsa. Ono ye mubaka omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso Betty Ethel […]

Gavumenti ne Minisitule Y’eby’obulamu Basabiddwa Basabiddwa Okutuusa Obujjanjabi Bwa Kkansa mu Byalo

BYA TONNY EVANS NGABO | KYAGGWE TV | MENDE-WAKISO | Ng’eggwanga likyali mu mwezi gw’okwefumiitiriza wamu n’okumanyisibwa ku kirwadde kya kkookolo (cancer), gavumenti ne Minisitule y’eby’obulamu bisabiddwa okulowooza ku nsonga y’okugayiza obuweereza ku bujjanjabi bw’ekirwadde kino eky’eyongedde okuwanika amatanga mu Bannayuganda ensangi zino. Okusinziira ku bibalo, we twogerera nga Bannayuganda abawerera ddala 33,000 be bazuulibwamu obulwadde […]

RDC Alabudde Bannamwandu Okwewala Okuwasiza Abasajja mu Nnyumba za Babbaabwe

BYA TONNY EVANS NGABO | KYAGGWE TV | WAKISO | Bannamwandu mu disitulikiti y’e Wakiso balaze enyiike gye bayitamu olw’abantu naddala ab’enganda za babbaabwe ababakkakkanako ne babatulugunya omuli n’okubagoba mu maka gaabwe amangu ddala nga baakafiirwa babbaabwe. Bano bagamba nti oluusi n’abaana babeefuulira ne babagoba mu by’obugagga bye baba baakolera ne babbaabwe nga bakyali balamu […]

Abasima Omusenyu mu Nnyanja Bakoze Effujjo ku B’akakiiko K’obutonde Bw’ensi

Ab’akakiiko akavunanyizibwa ku butonde bw’ensi wamu n’abakulembeze mu disitulikiti y’e Wakiso bakiguddeko abasima omusenyu mu nnyanja mu bitundu by’e Kasanje bwe babalabyeko ne bassaako kakokola tondeka nnyuka kwossa okuyiwa entuumu z’omusenyu mu kubo okubalemesa okutuuka mu kifo kino awaateekebwa aguuma wamu n’ebimotoka ebiyiikuula omusenyu okuva mu nnyanja Nalubaale. Ssentebe w’akakiiko akavunanyizibwa ku butonde bw’ensi era […]

error: Content is protected !!