Kitalo! Pastor Afiiridde Mu Kabenje Ka Boda!

0 minutes, 33 seconds Read

Abakkiriza baguddemu encukwe bwe bafunye amawulire g’okufa kw’omusumba waabwe mu kabenje. 

Pr. Sharif Micah owa House of Liberty Church Kiwanga esangibwa mu divizoni y’e Goma mu munisipaali y’e Mukono ye yafiiridde mu kabenje Ka bodaboda.

Kigambibwa nti Pr. Micah yabadde ku bodaboda ng’ava ku mulimu gwa njiri mu kkanisa emu esangibwa e Kayunga mu munisipaali y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso.

Akabenje kano kaagudde ku nkulungo y’e Kalerwe ku Northern Bypass ku Lwomukaaga ssaawa nga ssatu ez’ekiro. Kyaggwe TV ekitegeddeko nti omusumba Micah yafiiriddewo era omulambo gwe gwatwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago.

Okusinziira ku batuuze, Pastor Micah abadde wa mugaso nnyo eri ekitundu ng’aliko abaana bangi b’ayamba omuli n’okubaweerera.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!