Akasattiro ku Poliisi: Omutuuze Afiiridde mu Kaduukulu

0 minutes, 39 seconds Read

Waabaddewo akasattiro ku poliisi abasirikale bwe baagudde ku musibe ng’afiiridde mu kaduukulu.

Hassan Kisuule omutuuze ku kyalo Naminya mu divizoni y’e Wakisi mu munisipaali y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe y’agambibwa okweyimbamu ogwa kabugu ne yeetuga okukkakkana ng’eyiye efumba bavuunise.

Kisuule yafiiridde mu kaduulu ka poliisi esangibwa mu Wakisi gye yatwaliddwa ku musango gw’okubba ebyuma ebimanyiddwa nga scrap.

Okusinziira ku batuuze, Kisuule yakwatiddwa n’atwalibwa ku poliisi oluvannyuma lw’okubba ebyuma bya scrap ku musuubuzi wa scrap ategeerekeseeko erya Ssebuufu. Kigambibwa nti Kisuule yasangiddwa ng’alebeetera mu kaduukulu ka poliisi oluvannyuma lw’okwetuga.

Ssentebe w’ekitundu kino Waguma Hassan Basseke yakakasizza ekikangabwa kino ekyagudde mu kitundu kye.

 

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!