Eyali Ssenkaggale wa FDC, Rtd. Col. Dr. Kiza Besigye ne banne bwe bali mu kiwayi kya FDC Katonga bannyogoze oluvannyuma lw’akakiiko akafuga eby’okulonda okugoba okusaba kwabwe kwe baateekamu nga basaba okuwandiika ekibiina ky’eby’obufuzi ekipya.
Dr. Besigye ne banne omwezi oguwedde bawandiikira akakiiko k’eby’okulonda nga basaba okuwandiisa ekibiina ky’eby’obufuzi ekipya ki People’s Front for Freedom (PFF). Eby’embi, bano abakulu abatwala akakiiko k’eby’okulonda tebabaganyizza kugenda mu maaso na nteekateeka eno.
Ensonga ze bawadde ezigaanyisizza okusaba kwabwe mwe muli eky’okuba nti erinnya lino erya People’s Front for Freedom lijja kubuzaabuza bannansi kuba lifaananamu ery’ekibiina ekyawandiisibwa edda ki People Power Front (PPF).
Akakiiko era kagamba nti langi n’omubala ebya PFF bifaanana ebya FDC ekintu ekijja okutabula abawagizi. Dr. Besigye yafuna obutakkaanya n’abakulu abakulembera ekibiina kya FDC abali wansi w’obukulembeze bwa ssenkaggale, Patrick Amuriat ne basalawo okwekutulako ne badda e Katonga gye bamaze ebbanga nga gye bakakkalabiza egyabwe. bano baalabye tekiibamalire ne bakola enteekateeka ez’okukola ekibiina ekipya ng’era babadde basuubira n’okujjulula ekibiina kya FDC nga bagamba nti abasinga ku baakitandikawo baakyabuulidde nga n’olw’ensonga eyo tekikyalina makulu gakisigazaawo.