Ssaalongo John ng'obulamu bugonze.

Ssaalongo John: Enteekateeka Y’okumukungubagira N’okuziika Nga Bw’eyimiridde

0 minutes, 48 seconds Read

Oluvannyuma lw’okutuva ku maaso olwa leero ku Mmande nga October 21, 2021, enteekateeka z’okukungubaga n’okuziika Ssaalongo John Ssekandi zifulumye.

Omulambo gwa Ssaalongo John akawungeezi ka leero gugyiddwa mu ddwaliro ne gukomezebwawo mu maka ge e Nabuti mu kibuga ky’e Mukono gy’agenda okusula ng’abantu okuli ab’oluganda, emikwano bamukungubagira.

Emboozi ya Ssaalongo John, Eyali Omusomi W’ebirango ku Leediyo Uganda ne CBS

Ku Lwokubiri nga October 22, waakubeerayo okusabira omugenzi mu kkanisa e Nsuube ng’okuva eno, waakutwalibwa e Bunankanda mu kyalo ate abakungubazi gye banaasula.

Ono waakuziikibwa ku Lwokusatu nga October 23 e Bunankanda ng’okutuukayo oyita Kisoga n’okwata olugenda e Salaama n’okutiramu ddala.

NRM Secretariat PRO Remanded for Slapping Traffic Police Officer

Kigambibwa nti Ssaalongo John yaseeredde n’agwa mu kinaabiro, wadde ng’era abadde amaze emyaka ng’atawaanyizibwa ebirwadde eby’enjawulo.

Ssaalongo John yayatiikirira nnyo mu mulimu gw’okusoma ebirango ku Leediyo okuli Leediyo Uganda, CBS ey’okujjajja ne Super FM.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!