Omugagga Adduukiridde Abantu N’ettu Lya Christmas

1 minute, 15 seconds Read

Bya Abu Batuusa

Kaabadde kayisanyo ku kkampani ya Tubagaliza Property Services e Nansana ng’eddiza ku ba kkasitoma baayo abaakunukkirizza mu 500 n’ebintu bya Ssekukkulu.

Bano era baawadde ne ba ssentebe b’ebyalo abasoba mu 10 amatooke, enkoko kwossa n’ebbaasa era bano baasiimye enteekateeka eno ne bagamba nti baba kitundu mu mulimu gw’okugula ettaka nga n’olw’ekyo ono okujjukira n’abasiima kikolwa kirungi nnyo.

Ssenkulu wa kkampuni ya Tubagaliza Property Services Byamukama Vincent yatubuulidde ku bukulu bw’enteekateeka eno wabula n’asaba banne abali mu mulimu guno okumulabirako.

Kkampuni eno amakanda yagasimba ku kizimbe kya Maama Nambi Complex e Nansana. Byamukama yategeezezza nga kino bwe yakikoze olw’okujjukira abantu be abamuwagira.

Yagambye nti kino akikola buli mwaka n’agamba nti mu nteekateeka y’omwaka guno, asobodde okuwa abantu abakunukkirizza mu 500 ebyassava bya kulisimaasi omuli; amatooke, enkoko n’ebbaasa eza kirimuttu.

Byamukama agamba nti bbo okusobola okuwangaala mu mulimu guno ogw’okutunda ettaka, baateeka ku bbali obuyaaye ng’ettaka lye batunda tekubeera nkaayana ate buli muntu bw’amala okubasasula bamuwa ekyapa kye olwo n’aba n’eddembe okukukozesa ettaka lye nga bw’aba ayagadde.

Ye maneja wa Kampuni eno Gerald Bakka alambudde ku nteekateeka gye balina omwaka ogujja era n’asiima ne bakkasitoma baabwe ababayimirizzaawo ebbanga lino lyonna.

Ba ssentebe bano nga bakulembeddwamu Katende Haruna basiimye Tubagaliza era ne bamusaba okukulembezanga amazima n’awa n’abantu abagula ettaka okwebuuzanga ku bakulembeze b’ekitundu nga tebannagula okwewala okugula empewo.

Omuliro e Namirembe! Bp. Banja Agobye Rev. Mereewooma Abakulisitaayo ne Batabuka!

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!