Asibiddwa Emyaka Akulira abalamuzi ba kkooti ento e Kira, Sallon Niwaha aliko omukozi w’awaka gw’akalize emyaka 40 mu nkomyo ng’entabwe eva ku kusingisibwa musango gwa kutugunya mwana.
Precious Tumuhirwe atemera mu gy’obukulu 35 y’asindikiddwa mu mbuzi ekogga akulunguleyo emyaka 40 ng’entabwe eva ku kukkiriza musango gwa kutugunya mwana ow’emyaka 4 Claire Tumwekwase muwala wa Micheal Mwesigwa, omutuuze w’e Kikonko-Kirinya mu Bweyogerera mu munisipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso.
35-Year-Old Housemaid Jailed for 40 Years For Torturing 4-Year-Old Girl
Kkooti etegeezeddwa nti Tumuhirwe omusango yaguzza nga December 27, 2024, ng’oluvannyuma yabinnyika mu nsuwa okudda ewaabwe mu disitulikiti y’e Kabaale gye baamukwatidde ne bamuzza e Kira gye yaddiza omusango.
Omulamuzi ategeezezza ng’ekitongole ekiramuzi ne gavumenti bwe bitayinza kutunula butunuzi ng’ebikolwa ekika kino bikolebwa ku mabujje, abaliko obulemu kwossa ne Bannayuganda abalala ng’ono eyakwatiddwa olubona alina okuweebwa ekibonerezo ekikakali asobole okukola ng’eky’okulabirako.
Ku ssaawa mukaaga ez’ettuntu lya leero, poliisi y’e Kira ng’ekulembeddwamu akulira okunoonyereza ku misango Nuwamanya Samuel Binuzire batuusizza Tumuhirwe ku kkooti okusobola okugasimbagana n’omulamuzi.
Omulamuzi amusomedde omusango gw’okutuusa obuvune ku mwana ng’amutulugunya mu ngeri ez’enjawulo omuli okumukuba, okumuluma n’okumuggunda omutwe wansi ekyamuviirako okuvuna obuvune obulabwako kwosa n’okumukosa mu bwongo.
Emisango egimusomeddwa Tumuhirwe agikkirizza n’ategeeza kkooti nti kituufu yagikola. Omuwaabi wa gavumenti Basuuta Cate annyonnyodde kkooti engeri Tumhirwe gye yazzaamu emisango gino era n’alaga ne kkooti obujjulizi bwe baafuna mu kunonyereza kwabwe.
Basuuta ategeezezza nti baafuna n’obujulizi okuva ku batuuze abalinaanye amaka Tumuhirwe mwe yali akola mwe yaddiza omusango guno nga n’olw’ekyo, bano balindiridde okulaba nga kkooti ewa omukazi ono ekibonerezo ekikakali okusobola okuziyiza abalala abandiyagadde okukola kye kimu ku baana.
Ategeezezza nga muliranwa, Muzungu Faith bwe yawulira okukaaba kw’omwana okutali kwa bulijjo ne wankubadde baagezaako okukonkona enju Tumuhirwe yagaana okuggulawo nga ono yeyambisa esimu ya bba gye yawanika mu dirisa ly’ekiyigo n’akwata akatambi ng’omwana atulugunyizibwa mu ngeri eyeetimma n’obutemu obutagambika.
Oluvanyuma omulamuzi awadde Tumuhirwe omukisa okubaako ky’ayogera ku kikolwa kye yakola ku bbujje lino, ng’ono awuniikirizza kkooti bw’ategeezezza ng’omwana bwe yayonoona mu ngoye ze yali ayambadde ekyamujja mu buntu n’asalawo okumubonereza.
Omulamuzi abuuzizza taata w’omwana embeera gy’alimu n’ategeeza nga bwe basiibulwa ku lusooka omwaka okuva mu ddwaliro ly’e Nsambya kyokka omwana bwe yatuuka eka yagaana okufuluma emmotoka nga alowoza ‘Aunt’ ono akyaliyo era aky’atya n’okwesembereza abantu.
Gen. Muhoozi Saddened by Suicide of a UPDF Officer-Attributes It to Corruption
Omulamuzi awummuzza kkooti okumala ekiseera asooke ategeke ensala ye ku musango guno.
Kkooti bw’ezzeemu Omulamuzi awumbye wuumbye obujjulizi obwaleeteddwa mu kkooti omuwaabi wa gavumenti.
Omulamuzi asinzidde ku kya Tumuhirwe ye kennyini okukkiriza omusango guno bw’atyo n’amuwa ekibonerezo.
Ategeezezza nti Uganda yassa omukono ku mateeka g’ensi yonna agalwanyisa okutulugunya abantu ng’omwana ono ne wankubadde aliba akuze kujja kusigala nga kimukosa alaba obutambi ku bikolwa ebyamutusibwako.
Amusalidde ekibonerezo kya kukaligibwa emyaka 40 mu nkomyo ne wankubadde abadde alina okusibwa mayisa.
Akangudde ku ddoboozi nga Kkooti bwetagenda kuzinga mikono ku bantu abatulugunya abato kwossa n’abo abateesobola era n’alabula Bannayuganda ku bikolwa ekika kino.