Ekyalo Namawojjolo East ekisangibwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono kifuuse kya bulambuzi olw’abantu abava okumpi n’ewala nga bagenda okwelabira ku muvubuka ow’emyaka 18 akoze ebyafaayo bw’avumbudde amafuta agatambuza ebidduka.
Bashir Kanaabi atemera mu gy’obukulu 18 gyokka nga yakola Ssiniya ey’okuna (S4) omwaka oguwedde y’afuuse ensonga.
Kanaabi agamba nti amafuta agakola mu kasasiro ava mu biveera.

Ono agamba nti akola amafuta aga ddizero, petulooli, amafuta ag’ettaala (paraffin) woyiro ssaako ggiriisi ow’ebika eby’enjawulo.
We twatuukidde mu kifo Kanaabi w’akolera mu maka ga jjajjaawe Deziranta Nantanda nga waliwo n’abagoba ba bodaboda bakira abeesomba omu kw’omu nga bwe bagula amafuta ono g’akola nga bagateeka mu ppikippiki zaabwe nga basimba nga beeyongerayo mu kunoonya ensimbi.
Nantanda yannyonyodde nti muzzukulu we Kanaabi yafuuse kyabulambuzi ku kyalo kino olwa kino ky’akola ekyewuunyisa eky’okukola amafuta n’ebirala.
Mu bantu abagenze okulaba ku Kanaabi by’akola mwe mubadde n’omwami wa Kabaka akulembera omuluka gw’e Namawojjolo mu ggombolola ya Mituba 4 Kawuga mu Ssaza Kyaggwe, Fred Kizito n’omumyuka wa Ssekiboobo eyawummula, David Kato Matovu era bano Kanaabi abannyonnyodde gye yatandikira okukola amafuta.

Kanaabi ng’ali wamu ne banne abamuyambako awanjagidde gavumenti okumukwasizaako naddala ng’emuwa ku byuma ebyeyambisibwa mu mulimu guno kimuyambeko mu kuteeka obwangu mu by’akola mpozzi n’okukendeeza ku bulabe mwe bakolera.
Omumyuka wa Ssekiboobo eyawummula, David Kato Matovu n’omwami w’omuluka gwe Namawojjolo baagala be kikwatako okuvaayo okulambika Kanaabi ne banne mu bye bakola n’okubongeramu obukugu.