Abasawo mu ddwaliro e Rubaga bavuddeyo ku bigambo ebibadde bitandise okuyitingana nga biraga ng’omubaka wa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya bw’afudde.
Bano bagamba nti si kituufu, wadde omubaka Ssegirinya tali mu mbeera nnungi era ng’ali mu ddwaliro, mu kiseera kino tannaba kufa.
Amawulire g’okufa kw’omubaka Ssegirinya gasaanikidde omutimbagano nga n’emikutu gy’amawulire egy’amaanyi mu ggwanga okuli CBS, BBS ne New Vision gimubise.
Amawulire gano gasiikudde emmeeme z’abantu bangi okuli ab’oluganda lwa Ssegirinya, abawagizi be mu by’obufuzi ne Bannayuganda ababadde bamugoberera ssaako abawagizi b’ekibiina kya NUP ono mw’ali.
Ng’Abaganda bwe bagamba, “Abise y’abikanga.”
Pictorial: Sixteen Little Sisters Celebrate Golden, Silver Jubilee in Service