Emisito gy'ennyama ku kyoto nga bagyokya.

Okukuza Amazaalibwa ga Kabaka: Ab’e Kyaddondo Bakungaanye Okubaako Bye Bayiga

1 minute, 12 seconds Read

Bano bakungaanye ku nteekateeka ey’ekyoto kwe bagenda okuyigira ensonga ez’enjawulo kyokka ng’era baatandise dda n’okwokya emisito gy’ennyama.

BYA TONNY EVANS NGABO | KYADDONDO | KYAGGWE TV |

Ng’eggwanga liri mu keetereekerero ak’okukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi ag’e 70 ag’ekitiibwa, bbo Bannakyaddondwa ensonga bagyongeddemu ebirungo.

Bano bakungaanye ku nteekateeka ey’ekyoto kwe bagenda okuyigira ensonga ez’enjawulo kyokka ng’era baatandise dda n’okwokya emisito gy’ennyama.

Police Hit Bukedde TV Reporter Kalyankolo with Teargas Canister, Admitted in ICU

Abayizi b’amasomero nabo tebalitumiddwa mwana.

Ku Kyoto nga bwe gwabeeranga edda mu Buganda, nga ba jjajja batwala akaseera kano okubaako ebintu eby’omuwendo bye banyumiza bazzukulu baabwe sso ng’era babagabula n’ebigagu.

Mu byabanyumizibwanga mwabangamu engero, ebikoco, ebikokko n’emboozi ezikwata ku bintu eby’enjawulo omuli n’ebyafaayo.

Ekyoto kikungaanyizza abaana, abavubuka, abakyala n’abasajja abakulu ssaako ba jjajja abattuuludde mu myaka.

Abataka nabo baateredde dda bubya.

Enteekateeka eno akageri gy’etali ya bulijjo, Minisita wa Kabaka, Ow’ek: Anthony Wamala nga y’atwala eby’obuwangwa, ennono n’embiri y’asuubirwa okubeera omugenyi omukulu. Bano bakungaanidde ku mbuga y’essaza ly’e Kyaddondo e Kasangati. Kaggo, ye mwami wa Kabaka atwala essaza lino era ono ateeseteese bingi by’agenda okunyumiza n’okugabula abantu ba Maasomoogi.

Emisito gy’ennyama nga bagyokya.
Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!