Hajji Ssebaggala (ku kkono) ne Hajji Ssemakula (ow'okusatu ku kkono) nga bali e Seeta-Namuganga ku mukolo gw'okukuza olunaku lw'abakyala olwategekeddwa disitulikiti y'e Mukono.

Olutalo Lwa Hajji Ssemakula Okusiguukulula Mukamaawe Hajji Ssebaggala-Babiyingizzaamu Emmundu!

4 minutes, 19 seconds Read

Bagamba nti Hajji Ssebaggala y’ali emabega wa kalebule abungeesebwa nti Hajji Ssemakula yasonze emmundu mu Hussein Musambi  omutuuze w’e Kabimbirimu mu ttawuni kkanso y’e Kasawo mbu ng’amulanga okubabega.

Sad! Senior Midwife Sarah Katumba is Dead!!!

Ng’eggwanga lyolekedde okulonda okumanyiddwa ng’okw’akamyuufu mu kibiina ekiri mu buyinza ekya NRM, okukuba kampeyini kutabuse okutandikira ku beesimbyewo okuva ku ntikko e Mukono, omuli okusongaganamu ennwe, okwesiiga enziro n’ebikolwa ebirala eby’effujjo.

Omu ku beesimbyewo mu kifo ky’obwa ssentebe w’ekibiina mu distulikiti, Haji Haruna Ssemakula anenyezza munne bwe bavuganya nga si mulala, ye ssentebe w’ekibiina mu disitulikiti, Hajji Twahir Ssebaggala ng’ono ate Hajji Ssemakula gw’amyuka, ng’amuvunaana mbu olw’okugezaako okuttattana erinnya lye ayonooneke mu balonzi.

Haji Ssemakula yeesimbye ne mukama we Hajji Ssebaggala amaze ebisanja bisatu mu ntebe, era ababiri bano bali ku mbiranye nga kiyinza obutaba kyangu kusalawo ani ayinza okukuba munne ekigwo mu kulonda okubindabinda.

Ebikyasembyeyo okuva mu nkambi ya Hajji Ssemakula bigamba nti Hajji Ssebaggala atadde ensimbi mu kaweefube ow’okwonoona bwe bavuganya (Hajji Ssemakula) okuyita mu kusaasaanya ebigambo ebitaliiko mutwe na magulu nti Hajji Ssemakula yaggiddeyo omulonzi Emmundu ekika kya bbaasitoola ku Lwokuna oluwedde nga May 1, 2025 mu ttawuni y’e Kasawo.

Hajji Haruna Ssemakula, amyuka ssentebe wa NRM owa disitulikiti y’e Mukono ng’ayogera.

Bagamba nti Hajji Ssebaggala y’ali emabega wa kalebule abungeesebwa nti Hajji Ssemakula yasonze emmundu mu Hussein Musambi  omutuuze w’e Kabimbirimu mu ttawuni kkanso y’e Kasawo mbu ng’amulanga okubabega.

Wabula ebimwogerwako, Hajji Ssebaggala bwe twamutuukiridde nga tuyita ku lukomo lw’essimu naye yagambye nti ababimuteekako batandise kupanga bigambo ate okulaba bwe bafuna obuwagizi nga beeyambisa erinnya lye! Yagasseeko nti “obwo mu by’obufuzi buba bukodyo bwa munafu!” ng’anoonya okulaba butya bw’ayinza okufuna obuganzi ng’abantu bamusaasira.

Ku Lwokutaano ku makya engambo zaayitingana nti bino byaliwo mu maka ga ssentebe wa NRM e Kasawo, Andrew Kaddu Kabugo, mbu Musambi gye yali ayingidde mu lukiiko lw’abawagizi ba Ssemakula olw’okutema empenda z’okuwangula akalulu.

Kigambibwa nti Musambi bwe baamulagira okuva mu lukiiko lwe baali batamuyiseemu, yagezaako okukuguba ekintu ekigambibwa okunyiiza Hajji Ssemakula. Ababiri baali kye baggye bave ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’abakyala olwa disitulikiti, ng’omukolo guno gwali ku kisaawe e Namuganga mu ggombolola y’e Seeta-Namuganga nga Minista w’eby’emirimu n’entambula, Gen. Edward Katumba Wamala ye yali omugenyi omukulu.

Hajji Twahir SSebaggala, ssentebe wa NRM owa disitulikiti y’e Mukono ng’ayogera.

Gen. Katumba Wamala mu kwogera yali akubirizza bannabyafuzi okwewala emize egy’okusiigangana enziro, beemalira ku kutegeeza balonzi bye bakoze ne bye bategeka okubakolera ssinga balondebwa, olwo babaleke bbo beesalirewo kw’ani gwe balabamu omulamwa era bamuyiire obuwagizi.

Mu mboozi ey’akafubo ku Lwokutaano, Hajji Ssemakula yeerayiridde okutwala mu kkooti oyo yenna anaasangibwa nga yeetaba mu kaweefube w’okusaasanya amawulire agagendereddwamu okwonoona erinnya lye.

Yagambye nti amaze ebbanga ng’akozesa enkola ey’okuperereza abalonzi, nga yatuuka n’okugulira ba ssentebe b’ekibiina ab’amagombolola 18 agakola disitulikiti y’e Mukono pikipiki n’ekigendererwa eky’okukyusa obukulembeze ye bw’alaba ng’obukoze ekinene okunafuya ekibiina kyabwe ekya NRM mu distulikiti y’e Mukono.

Hajji Ssemakula agamba nti wadde nga mu kiseera Hajji Ssebaggala we yafunira obukulembeze bwa NRM obwa disitulikiti y’e Mukono, NRM yali mu kifo ekisooka nga ababaka ba palimenti basatu ku bana bava mu NRM, sso nga mu kiseera kino bonna bava ku ludda oluvuganya gavumenti.

Mukono NRM Leadership: Flag Bearers Line Up Behind District Vice Chairman

“Ng’ekibiina, twakkiriza Hajji Ssebaggala asigale mu bukulembeze bw’ekibiina, naye bwe tulabye ng’oludda oluvuganya lweyongera kwegazanya wamu n’okudda waggulu mu buwagizi, nze ne nennewaayo okumusiguukulula ku lw’obulungi bw’ekibiina,” Ssemakula bwe yagambye.

Ng’aggumiza ensonga ye, yagambye nti mukama we we yajjira mu bukulembeze NRM yalina obuwagizi obuweza ebitundu 85 ku 100 ng’otunuulidde ababaka ba palimenti, ng’omubaka Betty Nambooze eyali owa DP mu kiseera ekyo nga ye yekka ey’ali ku ludda oluvuganya, nti naye kati, ekibiina kyabwe tekirina mubaka n’omu, ekintu kye yatadde ku butaba na bakulembeze bamanyi kukubiriza bawagizi na kusikiriza bapya.

Okusinziira ku Andrew Kaddu nnanyini maka omwali olukiiko omugambibwa nti Hajji Ssemakula mwe yaggirayo emmundu, eyatandika okusaasanya amawulire gano yakozesa obutali bukugu olw’obutasooka kubuuza abaali mu lukiiko ddala kiki ekyaliwo.

Omuwagizi omulala Ssaalongo Godfrey Kimula yavumiridde abakozesa abavubuka okusiga ensigo ez’obukyayi, n’agamba nti akakodyo kano kayamba mulabe kufuna w’asinziira okunafuya NRM wamu n’okugirumba.

Bwe yabuuziddwa ku nsonga eno ku ssimu, Hajji Twahir Ssebaggala yasekeredde munne bwe bavuganya olw’okukozesa ye kye yayise obukodyo obwoleka munnabyabufuzi omunafu, era n’agamba nti ebyo ebimwogerwako ye tebimuyigula ttama. Yabadde aganye okubaako ky’ayogera, naye oluvanyuma n’agamba nti abamuvuganya banoonya kumuggya ku mulamwa n’okunafuya abawagizi be.

Bwe yabuuziddwa okunnyikiza ebigambo bye, Hajji Ssebaggala yazzeemu bw’ati: “Sisobola kuwakanya oba okukakasa ebyogerwa ku Hajji Ssemakula okusikirayo omuwagizi emmundu, naye nze ekinkwatako kiri kimu kutegeeza bawagizi bange ntegeka gye tulina olw’okuyitimusa ekibiina kya NRM mu disitulikiti y’e Mukono; bw’aba nga ddala yasikirayo abantu emmundu, leka amateeka gakole ogwago naye engeri nze gye ssaali mu lukiiko olwo, ebyo mbiri bbali,” n’oluvanyuma n’ajjako essimu.

Jilted Man Beheads Ex-girlfriend – Arrested with Head in Shrine

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!