Omukadde Nakibuuka nga bw'abadde afaanana, wansi abantu abali mu lumbe lwe.

Omulambo Gw’ow’emyaka 95 Gulemedde Kungulu, Mbu Klezia Yabba Ekyapa Kyagwo!!!

1 minute, 7 seconds Read
Omukadde Maria Thereza Nakibuuka nga bw’abadde afaanana.

Omulambo gw’omukyala omukadde ow’emyaka 95 guzimbiridde aba ffamire ye oluvannyuma lw’okulemera kungulu kati wiiki nnamba bukyanga afa okumuziika kukyalemye.

Kigambibwa nti omugenzi yaleka ekiraamo ekikambwe eky’obutaziikibwa okutuusa nga Ekereziya Katolika ebawadde ekyapa kye kye yagiteresa.

Maria Thereza Nakibuuka 95, ng’abadde mutuuze ku kyalo Nakuwadde Bbira-Lubanyi mu disitulikiti y’e Wakiso omulambo gwe guzimbiridde aba ffamire ng’entabwe eva ku nkaayana za ttaka wakati w’omugenzi ne krezia.

Kigambibwa nti Nakibuuka bwe yali atandise okunafuwa emyaka nga 10 egiyise nga mu nnyumba abeeramu bw’omu yeekengera abayinza okumuyigirira ne babba ebiwandiiko bye kwe kusalawo okukwata ekyapa kye n’akiterese Ekereziya ya Nakulabye Catholic Parish.

Eby’embi, mbu ate Nakibuuka kyamubuukako okukitegeerako nti ekyapa kye kya kyusibwa okuva mu mannya ge ne kizzibwa mu ga Ekereziya.

Ono mbu kye yakola kwe kuwandiika ekiraamo ng’annyonnyola ensonga era n’alagira nti okuleka nga Klezia yeefukuludde n’eddiza aba ffamire ye ekyapa kye, tebamuziikanga, bamuleke awunyire kungulu!

Omukulu w’Ekika ky’Enyonyi Namungoona, Richard Luswata Musajjakaawa, agamba nti babadde bagugulana ne Ekereziya okumala akabanga nga muzzukulu we abanja ekyapa kye wabula nga tebakimuwa.

Wabula, Rev Fr. Richard Ssajjabi, chief executive officer wa Kampala Archdiocese Land Board, agamba nti Nakibuuka my bulamu era ng’ategeera bulungi era nga takakiddwa yawaayo ettaka lye eriri ku bugazi bwa yiika 1.4 eri Legion of Mary, ekitongole kya Ekereziya Katolika nga nabo ate ebigenda mu maaso tebabitegeera.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!