Kkooti ekitegedde nti mu March wa 2025, omwaka guno, Kitimbo yakabasanya omwana ow’obuwala asoma P.6 ng’aweza emyaka 14 n’oluvanyuma n’adduka okwetegula ekibabu.
Abasomesa basatu okuva ku somero lya Hope Land Junior school erisangibwa mu munisipaali y’e Lugazi ku kyalo Kitoola basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Nsobya Ronald Kamya n’abasomera emisango ebiri okuli ogw’okwekobaana ne bazza omusango gw’okukabassanya omwana ow’emyaka 14, ate era ne beekobaana ne babuzaawo obujulizi.
Abasimbiddwa mu kkooti kuliko; Valence Lutayisire ng’ono ye nnanyini ssomero, Daniel Jaitonde, ne Meddie Mugabi nga bano basomesa ku ssomero lino erya Hope Land Junior school, kigambibwa nti bano beekobaana ne batolosa omusomesa agambibwa okusobya ku muyizi ku ssomero lino ategeerekese nga Kitimbo Mwesigwa.
Kkooti ekitegedde nti mu March wa 2025, omwaka guno, Kitimbo yakabasanya omwana ow’obuwala asoma P.6 ng’aweza emyaka 14 n’oluvanyuma n’adduka okwetegula ekibabu.
Mbabazi Seeks NRM Ticket to Access Parliament on Elderly Slot
Kityo John taata w’omwana alaze obulumi muwalawe bw’ayitamu okuva omusomesa lwe yamusobyako.
Kityo ategeezezza nti kati omwana omusolo gumuyitamu buyisi, era n’asaba kkooti ekole obwenkanya mu musango guno.
Omulamuzi Nsobya mu kkooti y’e Lugazi asomedde abakwate emisango ebiri, okuli Valence Lutayisire, Daniel Jaitonde ne Meddie Mugabi wabula ne bagyegaana.
Munnamateeka w’abakwate bano asabye kkooti ekkirize basobole okweyimirirwa bano kyokka omulamuzi n’atakikkiriza era n’abasindika kw’alimanda okutuusa July 2, 2025.
Four NIRA Officials Arrested for Extortion in Registration Exercise