“Omuwanguzi alina okukwatira NRM bendera alina okuba nga y’asinga obuwagizi mu bantu sso ssi oyo gwe batembeeta obutembeesi. Abantu bampadde obululu misana ng’ensi eraba, ate abakulu ne bakola olukwesikwesi ng’eggombolola emu tebagibaze ne balangiriramu Nakavubu, ekyo siyinza kukikkiriza,” Kusaasira bwe yategeezezza.
Olutalo wakati wa Bannakibiina kya NRM abaavuganyizza ku kifo ky’okukwatira kkaadi ekibiina ku kifo ky’omubaka omukyala owa palamenti owa disitulikiti y’e Mukono lukyalanda.
Kiddiridde Margaret Nakavubu okulangirirwa ng’eyawangudde akamyufu wabula Kusasira n’avaayo n’awakanya ebyalangiriddwa.
“Omuwanguzi alina okukwatira NRM bendera alina okuba nga y’asinga obuwagizi mu bantu sso ssi oyo gwe batembeeta obutembeesi. Abantu bampadde obululu misana ng’ensi eraba, ate abakulu ne bakola olukwesikwesi ng’eggombolola emu tebagibaze ne balangiriramu Nakavubu, ekyo siyinza kukikkiriza,” Kusaasira bwe yategeezezza.
Stephen Nakabaale, eyakuliddemu okulonda kw’akamyufu ka NRM mu disitulikiti y’e Mukono yalangiridde Nakavubu ku buwanguzi oluvannyuma lw’okukungaanya obululu 22,364 n’addirirwa Kusasira ku bukulu 16,668, Esther Nagawa 497 ne Doreen Nakanwagi 160.
Wabula okulangirira kuno kwakoleddwa nga byo ebyava mu kulonda mu divizoni y’e Goma, tebyasobola kulangirirwa oluvannyuma lw’eyakuliramu okulonda Joseph Sulume okukwatibwa n’aggalirwa ku poliisi y’e Mukono nga kigambibwa nti yali yeenyigidde mu kubba obululu.
Wabula ng’asinziira mu lukiiko lw’ab’amawulire lwe yatuuzizza ku Summer Gardens ku Lwomukaaga, Kusasira yategeezezza nti teyakkiriziganyizza na byavudde mu kulonda kuba eggombolola ddamba ate nga ye mw’ava, ery’e Goma, ebyavudde mu kulonda eyo tebyagattiddwa ku bululu sso ng’ate okusinziira ku bye yakungaanyizza, lye limu ku magombolola gye yasinze okuwangulira waggulu ng’era lirimu abantu bangi nnyo.
UJA Issues Statement on Continued Detention of Mukono-Based Salt TV, URN Reporters
“Nnafunye obululu obuwerera ddala okuva mu Goma, ssinga obululu obwo buba bugattiddwa ku buno, Nakavubu mba muwangula ne wasigalawo n’obululu nga 2000, n’olw’ekyo, olw’okuba saagala kudda mu byakusika muguwa, nsazeewo ebya kkaadi ya NRM mbiteeke ku bbali nvuganye ku bwa nnamunigina mu 2026, olwo munnange Nakavubu lw’anaakitegeera nti siri wa kuzannya,” bwe yategeezezza.
Bwe yabuuziddwa ku kibiina kya NRM okuba nga kyagaana abantu abavuganyizza mu kamyufu ne bawangula ate ne basalawo okuddamu okwesimbawo ku lwabwe, Kusasira yagambye nti ye bw’anaakikola ajja kuba Talina tteeka lya byakulonda lyamenye ng abwe kiba kyetaagisa kuva mu NRM, mwetegefu okukikola kuba Terina kyamaanyi ky’emugasseeko okuleka mpozzi ye abadde agisaggulira obuwagizi.
“Teri kyalo kwe situuse, teri kyalo kutali kintu kyange, omuli obutebe, ttenti, amseffuliya, ebikopo, amasowaani ssaako emipiira n’emijoozi eri abavubuka,” Kusasira bwe yategeezezza.
Joy, Tears at the Final Count of the NRM Parliamentary In-House elections
Wabula ng’ayogerako eri ab’amawulire ku Lwokuna, ssentebe wa NRM mu disitulikiti y’e Mukono, Hajji Haruna Ssemakula yategeeza nti agenda kukola omulimu okulaba ng’agatta bannakibiina oluvannyuma lw’akamyufu nga ky’aluubirirwa kwe kwewala ate abaneesimbawo ku lwabwe ekiyinza okubakosa mu kulonda kwa bonna.
Okusinziira ku kulonda ng abwe kwatambula mu bifo ebirala, eyali Minisita omubeezi ow’amazzi, Ronald Kibuule yawangudde kkonsituwensi ya Mukono North n’obululu 12,728 n’addirirwa Martha Kakai ku bululu 243 ne Harriet Mutibwa n’afuna 237.
Eyali omubaka wa Nakifuma, Ying. Robert Kafeero Ssekitoleko naye yawangudde kkaadi ku bululu 10,626 n’addirirwa Joseph Mugambe Kif’omusana ku bululu 1,104 ate Jackson John Ntwatwa n’afuna 642.
Nakabaale yalangiridde nti mu Mukono South, Tadeo Kintu yayiseemu nga tavuganyiziddwa.
Ate ku kifo ky’anaakwata kkaadi mu Mukono Munisipaali, oluvannyuma lw’okugotaana kw’obululu nga kiteeberezebwa nti obwavudde mu Goma bwabadde bukyusiddwakyusiddwa, ensonga zaayongezeddwayo ku kitebe ky’ekibiina e Kyaddondo ng’abakulu be banaasalawo ku kinaddirira.
Ekifo kino kyali kivuganyizibwako Andrew Ssenyonga ne Dr. Daisy Sarah Ssonko Nabatanzi ng’era olw’emitawaana egyalimu, kwaviirako ne Ssenyonga okulumba poliisi y’e Mukono mu kiro n’abamu ku bawagizibe ng’ayagala okumanyi ekyali kikwasizza eyakuliramu okulonda e Goma ng’ono mu mbeera eno ne mugandawe, Lauben Ssenyonjo poliisi yabakuba bubi nnyo nga ne gye buli eno embeera yaabwe ekyali mbi.
President Museveni Pledges One Billion Per Ghetto Structure in Kampala