Kyokka bano Migadde yabategeezezza nti tebasaanidde kwesuulirayo gwa nnaggamba ku nsonga y’okutandika SACCO z’abavubi Pulezidenti Museveni ze yabasuubiza okubateeramu ensimbi eziri eyo mu kawumbi kamu nga kino balina okukitandikako mu bwangu baleme kusigalira mabega ng’ate abavubi okuva mu disitulikiti endala bbo beetegese.

Abatuuze naddala abakulembeze abeegattira mu kibiina ekiri mu buyinza ekya NRM okuva mu bizinga eby’enjawulo ebikola eggombolola y’e Lyabaana mu disitulikiti y’e Buvuma beekozeemu omulimu ne beesondamu ensimbi ze batandise okutereka n’ekigendererwa eky’okwekolamu SACCO mwe banaayitira okwewola n’okutereka basobole okwekulaakulanya.
Bashir Ssenfuma ssentebe w’eggombolola y’e Lyabaana yayanjulidde omubaka w’ebizinga by’e Buvuma, Robert Migadde Ndugwa enteekateeka yaabwe mwe bayise okutandika okutereka ensimbi nga mudda basuubira nti bajja kutandika n’okwewola ng’ekibiina kino bakituumye Lyabaana NRM Leaders’ SACCO.
CAO on Spot For Ordering Closure of Schools to Enable Learners Attend Museveni’s Rally
Omukolo gw’okutongoza SACCO eno gwategekeddwa ku Lwomukaaga ku mwalo gw’e Ziiru mu ggombolola y’e Lyabaana mu disitulikiti y’e Buvuma.
Ssenfuma yategeezezza nti ebbanga ddene abakulembeze ba NRM okuviira ddala ku byalo, ab’emiruka, amagombolola n’aba disitulikiti babaddenga bawulirira buwulizi nti ssentebe waabwe ow’ekibiina ow’okuntikko azze ayiwa omusimbi mu bibiina eby’enjawulo ng’eno y’emu ku nsonga ebatandisizza ekibiina kino nga basuubira okwefunira ku musimbi ogwo nabo basobole okwekulaakulanya.
Kyokka Ssenfuma yalabudde nti SACCO eno ya njawulo kw’ezo ez’abavubi Pulezidenti Museveni ze yalagira zitondebwewo mwe banaayisa akawumbi k’ensimbi ezinaweebwa abavubi mu buli disitulikiti mu nteekateeka y’okubayamba okweddaabulula oluvannyuma lw’okumukubira enduulu nti bbo bazze balekebwa emabega mu nsimbi z’okwekulaakulanya eza PDM nga zino akakadde akamu kamu akaweebwa abantu mu miruka tezirina kye ziyinza kuyamba bavubi kuba ebikozesebwa mu kuvuba bigula ensimbi nnyingi.

Ng’ayogera, omuyambi wa RDC e Buvuma, Fred Singoma yategeezezza nti oluvannyuma lw’okusindikibwa e Buvuma mu bbanga eritali lye wala, RDC Hajat Hawa Namugenyi Ndege, yayita olukungaana lw’abakulembeze ba NRM ku mitendera gyonna abaamusindira ennaku n’okulaga nga bwe batafunye mu kibiina kye bawagira ng’eno y’emu ku nsonga ezaaleetera n’ekibiina okuwangulwa mu kulonda okwayita.
RDC Ndege yalagira abakulembeze ba NRM mu buli ggombolola okutandikawo SACCO nga bagenda kuba batereka n’okwewola nga muno RDC mw’agenda okuyita okubasakira sso si kuwa nsimbi ssekinnoomu ng’abasinga bwe balowooza.

“We twogerera tulina SACCO ng’eno ey’e Lyabaana mwenda mu disitulikiti, tulina essanyu nti nga tuyita mu SACCO zino, tufunye abakugu mu kutereka abavuddeyo ne basomesa bammemba ba SACCO zino emigaso egiri mu kutereka n’okwewola, tulina essuubi nti we tulifunira ensimbi RDC z’asuubira okubasakira, ng’ate nammwe mulina we mutuuse mu nsimbi ezammwe ng’abantu ze mutereka,” Singoma bwe yagambye.

Ye avuganya ku bwa ssentebe bwa disitulikiti y’e Buvuma ku kkaadi ya NRM, Matia Nixon Ocheng yasiimye enteekateeka eno n’agamba nti ssinga abakulembeze banaasuumusibwa mu byenfuna byabwe nga bafuna kye batereka ate n’okwewola okwekulaakulanya, olwo baakwongera okubeera ab’omugaso n’eri abantu be bakulembera nga babalaba ng’eky’okulabirako. Ocheng bano yabawadde ensimbi emitwalo esatu mu SACCO y’abwe n’abasuubiza n’ensimbi emitwalo 50 ssinga binaamutambulira bulungi.

Friday Wandera, ssentebe wa NRM mu disitulikiti y’e Buvuma, yasiimye enteekateeka eno etandikiddwa n’agamba nti egenda kujjawo ennono ebaddewo ey’okulya ensimbi mu ngeri y’ekivubi kuba abakulembeze kati bagenda kusobola okutereka ku kasente akatono ke bafuna ate bwe kanaawera bakeewole bakakozese bongere mu bbizinensi zaabwe.
Mu kusooka, abatuuze b’e Ziiru omubaka Migadde baamwanirizza nga muzira, nga baamulindidde ku mwalo eryato lye we lyagobye ne bagenda nga bwe bamukubira emizira n’okuyimba ennyimba ezibasuusuuta.

Ne Migadde yasiimye enteekateeka eno n’asaba abakulembeze abaalondeddwa okutwala mu maaso SACCO eno okubeera ab’amazima bakwate bulungi ssente za bannaabwe ng’olwo lwe bajja okusobola okugenda mu maaso.
Ssentebe w’eggombolola eno, Bashir Ssenfuma ye yalondeddwa nga ssentebe wa SACCO nga yasuubizza okubeera omwerufu okulaba nga SACCO eno eyawuka ku ndala ezizze zitandikibwa ne zitasimbula wadde ekigere ekisooka.

Kyokka bano Migadde yabategeezezza nti tebasaanidde kwesuulirayo gwa nnaggamba ku nsonga y’okutandika SACCO z’abavubi Pulezidenti Museveni ze yabasuubiza okubateeramu ensimbi eziri eyo mu kawumbi kamu nga kino balina okukitandikako mu bwangu baleme kusigalira mabega ng’ate abavubi okuva mu disitulikiti endala bbo beetegese.
Bano mu SACCO yaabwe, Migadde yataddemu ensimbi enkalu obukadde bubiri n’abasuubiza okubongera ssinga banaakola bulungi nga bwe baasomeseddwa.

“Kirungi nti mu SACCO omwenda eza disitulikiti RDC z’ayogeddeko, mmwe musoose okutongoza eyammwe, kijja kuba kirungi nga mukoze ebyo bye musuubizza olwo abalala abakyali mu nteekateeka basobole okubalabirako,” omubaka bwe yategeezezza.
Ng’agenda e Ziiru, Migadde yayitidde ku kizinga ky’e Nkata gye yawadde abaayo ttenti okubayambako nga babadde n’emikolo ng’eno baagimusaba gye buvuddeko naye kye yatuukirizza mu ngeri y’akusuubiza akira akumma.

“Gye buvuddeko bwe twali mu kunoonya obululu obw’akamyufu, nnayitirako wano okubasaba obuwagizi. Ndi musanyufu nti mwapagira era kkaadi ya NRM nze ngirina. Kyokka ku lunaku olwo, nnalina ensimbi emitwalo 40 ze nnabawa okugulamu olwendo lw’amazzi, naye mmwe mwennyini ne munsaba nti mu bulungi, ensimbi ezo nzitwale kuba zaali kaakubalwanya, ne munsaba mbongerezeeko mbaguliremu ttenti, y’eno nno gye ndeese,” Migadde bwe yannyonnyodde.
Ono era yabasabye okumusagira mu lwokwano lw’okudda mu palamenti ate ayongereze kw’ebyo by’abakoledde. Yategeezezza nti waakwewandiisa ku Lwokuna nga October 23, n’abayita okumwegattako ng’agenda okwewandiisa.



