Erina Mukasa Naggita (wakati), akola ku bya PDM mu muluka gw’e Buwangwe mu ttawuni kkanso y’e Buvuma nga yennyonnyolako. Ku ddyo y'amyuka RDC Mubiru.

Akola ku Bya PDM e Buvuma Akwatiddwa Lwa Kusolooza Ssente ku B’akolako

3 minutes, 42 seconds Read

Waliwo omutuuze eyagambye nti Naggita yali ky’aggye awe mukyalawe ensimbi akakadde ka PDM ne bamutwalira olugambo nga bwe baali bagenda okusenguka ku kyalo era n’abalumba n’abaggyako ssente ezo ku mpaka nga kye baggye bamale nazo emyezi ebiri gyokka ate n’abalagira n’okuteekamu n’amagoba ga mitwalo mukaaga era kye baakola.

Erina Naggita Mukasa eyakwatiddwa olw’okugontaanya enteekateeka ya PDM.

Aduumira poliisi mu bbendobendo lya Poliisi erya Ssezzibwa, Jaffer Magezi alagidde okukwata atwala ensonga za PDM mu muluka gw’e Buwangwe mu ttawuni kkanso y’e Buvuma ng’entabwe eva ku batuuze kumulumiriza kudibaga nteekateeka ya gavumenti eno eyateekebwawo n’ekigendererwa eky’okunnyulula abanaku okuva mu bwavu.

Erina Mukasa Naggita y’akwatiddwa n’aggalirwa ku poliisi y’e Buvuma ng’okunoonyereza ku musango gwe bwe kugenda mu maaso.

Jaffer Magezi, RPC wa Ssezibwa ng’ayogera eri abantu b’e Buvuma.

Bino we bibeereddewo ng’ebula mbale omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni abiteekemu engatto agende ku nteekateeka ye ey’okulambula engeri enkola ya PDM gy’ekolamu mu disitulikiti eza Greater Mukono okuli Mukono, Buikwe, Kayunga ne Buvuma nga bw’azze akola mu disitulikiti endala.

Bbo abakulembeze mu disitulikiti y’e Buvuma batandise okwekubamu ttooki n’okulaba butya bwe bagonjoola ebyo ebizze birumira mu nteekateeka eno mu kitundu kyabwe.

Bino byabaddewo mu nteekateeka ya bbalaza eyategekeddwa amyuka RDC w’e Buvuma, Patrick Mubiru ng’akungaanyizza abakulembeze okuli aba poliisi abava ku Ssezibwa Region e Lugazi nga bakulembeddwa RPC, Jaffer Magezi, RISO Alex Ssebunya, omubaka wa palamenti, Robert Migadde Ndugwa ssaako ba ssentebe b’amagombolola ag’enjawulo, abakulembeze ba NRM mu disitulikiti n’amagombolola n’abalala. Olukiiko luno lwatudde Kitamiiro mu Buvuma Town Council ku Lwokutaano.

Mu baasoose okuga ku ddobo ly’abakulembeze eri abakozi ba gavumenti abatuuze be beemulugunyizzaako okugootaanya enteekateeka ya PDM y’akola ku nteekateeka eno mu muluka gw’e Buwangwe, Erina Mukasa Naggitta.

Abatuuze ab’enjawulo baavuddeyo omu kw’omu nga beemulugunya ku Naggita okubasolozaangako ensimbi omutwalo gumu ku buli muntu gw’awa ssente za PDM wadde nga kino tekiri mu mateeka.

Waliwo omutuuze eyagambye nti Naggita yali ky’aggye awe mukyalawe ensimbi akakadde ka PDM ne bamutwalira olugambo nga bwe baali bagenda okusenguka ku kyalo era n’abalumba n’abaggyako ssente ezo ku mpaka nga kye baggye bamale nazo emyezi ebiri gyokka ate n’abalagira n’okuteekamu n’amagoba ga mitwalo mukaaga era kye baakola.

Eby’embi, ono yagambye nti Naggita talina kakalu konna ke yabawa kulaga nti bazzizzaayo ensimbi nga batya nti obudde bw’okusasula ate bandiddamu ne babasaba ensimbi ze zimu.

Abalala bamwemulugunyizzaako olw’okubavumanga n’okubayisa ng’ekitagasa. Bino olwagudde mu matu g’abakulembeze, RDC Mubiru n’ayita Naggita n’amuwa akazindaalo annyonnyole ku batuuze bye bamwemulugunyaako wabula nga yabyegaanye n’agamba nti mpalana nga ziriko abazikumamu ojuliro nga n’omu ali mu woofiisi ya RDC mwennyini.

Ono yabadde byannyonnyola tebigguka RPC Magezi n’alagira atwalibwe ku poliisi y’e Buvuma aggulweko omusango olwo batandike okumunoonyerezaako era omusirikale wa poliisi kwe kumuwerekera n’amuyingiza mu kaduulu olwo bbo abamwemulugunyaako ne babawondera okugenda okuwa obujulizi.

Abatuuze era baanokoddeyo ensonga endala ze bagamba nti zoolekedde okuddamu okusuula ekibiina kya NRM mu ddumbi ne mu kulonda okubindabinda nga bwe gwali mu mwaka gwa 2021 ssinga tezikolebwako. Muno mwe muli ab’ebibanja ebyasendebwa aba kkampuni ya BIDCO ne basimba ebinazi kati emyaka gigenda mw’etaano nga n’okukungula ebinazi baatandika naye ng’ate kkampuni y’etwala ensimbi eziva mu binazi ebyasimbibwa ku bibanja byabwe wadde nga tebasasulwanga bbo kye bagamba nti kikyamu.

ssentebe wa NRM mu disitulikiti y’e Buvuma, Friday Wandera yagambye nti nti bino byonna nga bigenda mu maaso, nga n’eky’okulya abatuuze tebakirina nga n’abaana baabwe eby’okusoma baabivaako dda bali ku byalo bakuba misota ekigenda okuddamu okubakosa buto mu kulonda okubindabinda ng’ekibiina ekiri mu buyinza.

“Kyannaku nti twekubidde enduulu okumala ebbanga ddene nga teri kikolebwa abakulu mu woofiisi tebawuwulira. Twawulira nti ne Pulezidenti Museveni yawandiika ebbaluwa ng’alagira abatuuze baliyirirwe naye byonna tebyakola,” bwe yannyonnyodde.

Abasirikale b’ebidduka e Buvuma nabo abatuuze baabeemulugunyizzako ne bategeeza nti bano basolooza ensimbi naddala ku buli wa bodaboda buli lunaku 2000 ssaako ku poliisi e Buvuma ng’abasirikale buli kimu bakisabako ensimbi.

RPC Magezi bino yabyanukudde n’ategeeza nti ssinga wanaaberayo omusirikale yenna gwe katanda n’addamu okusaba abantu ssente okubakolako, waakufiirwa omulimu gwe ate avunaanibwe.

Magezi era yayimirizza n’abasirikale ba poliisi y’ebidduka e Buvuma okutuuka ng’amaze okwekenneenya okwemulugunya kw’abatuuze.

Ye omubaka Migadde naye yanenyezza abakulembeze ku disitulikiti y’e Buvuma okutunula obutunuzi ng’abantu be bakulembera batulugunyizibwa mu ngeri eno ne batabeerako kye bakolawo wadde ng’ebigenda mu maaso babimanyi.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!