Embiranye eno okusinga eri mu ttawuni kkanso y’e Lyabaana ku mwalo gw’e Muwama ng’eno eriyo abatuuze babiri abatulaze ebisago ebyabatuusibwako bannaabwe aba NUP okuli n’omu gwe baaluma ekigalo ekisajja okubula okukikutulako ng’ono ye Sarah Kafuko ne munne Jane Matinyi.

Ng’okunoonya obululu mu nkambi z’abavuganya ab’enjawulo kwongera kubeeramu bbugumu olw’ennaku z’okulonda ezongedde okusembera, yo mu bizinga by’e Buvuma abaayo banyiga biwundu.
Abamu ku batulaze ku bisago be bawagizi b’ekibiina ekiri mu buyinza aba NRM nga bagamba nti batuuze bannaabwe aba NUP baabakkakkanako ne babakuba ne babaleka nga bayiika musaayi n’okuboonoonera ebintu nga babalanga kubasibako kanyaaga nga bawagira aba NRM bbo be bagamba nti be babasibye mu mbeera embi.
Embiranye eno okusinga eri mu ttawuni kkanso y’e Lyabaana ku mwalo gw’e Muwama ng’eno eriyo abatuuze babiri abatulaze ebisago ebyabatuusibwako bannaabwe aba NUP okuli n’omu gwe baaluma ekigalo ekisajja okubula okukikutulako ng’ono ye Sarah Kafuko ne munne Jane Matinyi.

Bano bagamba nti wadde baddukira ku poliisi y’omu kitundu okwekubira enduulu, OC Bernard Wanyama talina kye yabayamba ng’ate yeekubira ku ludda lwa banna NUP n’atuuka n’okubamma ebbaluwa ezongerayo omusango bagende mu mbuga z’amateeka oba oly’awo aba NUP ababakoozesa akagiri basobole okugololwa ku ttumba.
Bino babituseeko mu lukiiko olwetabiddwamu ssentebe wa NRM owa disitulikiti y’e Buvuma, Friday Wandera ng’ali wamu n’abakulembeze abalala aba NRM mu disitulikiti ssaako akulira akabondo k’ababaka ba palamenti aba NRM abava mu Buganda ng’era ye mubaka wa palamenti ow’ebizinga by’e Buvuma, Robert Migadde Ndugwa abadde mu kutalaaga ebizinga ng’anoonya obululu okusigala mu nkasi ng’omubaka w’ekitundu kino n’ekisanja ekijja.
Wadde nga OC Wanyama mu lukiiko luno tabaddeemu, omu ku basirikale be, Richard Edaru abaddewo ng’ono agezezzaako okunnyonnyola ebyaliwo n’okusalawo kwe baatuukako oluvannyuma lw’okukizuula nti bano baali balwanye lwa byabufuzi nga n’olwekyo tewaaliwo kyetaagisa ate kwongerayo misango.

Afande Edaru ategeezezza nti bwe kiba nti bbo okusalawo kwabwe bano tebaakuwuliriramu mirembe, waakwogera ne mukama we asomese abatuuze ku ngeri amateeka gye gakolamu.
Ng’ayanukula, Migadde ategeezezza nti mu bizinga eby’enjawulo gy’azze ayita, akizudde nti banna NRM balina engeri gye bayisibwamu ab’eby’okwerinda etali nnambulukufu ng’ate bannaabwe abali ku ludda oluvuganya bbo baliira mu ngalo ky’agambye nti si kituufu.
Migadde avumiridde eky’abakuuma ddembe okwekubira ku ludda mu mbeera eno n’asaba bano bakozese bwenkanya ku buli ludda aba NRM n’abali ku ludda oluvuganya gavumenti.

Asuubizza okuyamba ku poliisi ng’agiwa amafuta olwo DPC w’e Buvuma, Micheal Bagoole asobole okutuuka mu kifo kino ataggulule obunkenke obuliwo wakati w’abantu ne poliisi ekitadde banna NRM mu kaseera akazibu.
Bbo abakulembeze okuli Bashir Ssenfuma, ssentebe wa NRM era meeya wa Lyabaana owa Lyabaana TC ssaako ssentebe Wandera bavumiridde eryanyi erikozesebwa abakuuma ddembe bwe gwatuuse ku b’oludda oluvuganya gavumenti naddala wano mu disitulikiti za Buganda nga balaze obweraliikirivu nti ekyaliwo mu 2021 aba NUP bwe baayera ebifo by’obukulembeze ebisinga obungi kituuse okuddamu ssinga tewabaawo kikolebwa kukoma ku ba byakwerinda bano.


