Omuyimbi w’ennyimba za ‘band’ era ez’omukwano, Hajjat Stecia Mayanja alangiridde nga bwe yeesozze olwokaano lw’eby’obufuzi. Stecia Mayanja agamba nti ayagala kuvuganya ku kifo kya mubaka wa palamenti eky’omukyala akiikikirira ekibuga Kampala.
“Kino si kirooto, bino byaddala,” Stecia bwe yategeezezza ng’ayita ku mukutu ku mugatta bantu ogwa Facebook.
Stecia w’aviiriddeyo nga ky’aggye akole ekivvulu ekyasudde n’ennyenje mu Kampala, Masaka n’e Mukono era ono Bannayuganda abadigize baamuwagidde mu bungi ddala.
Mu lwokaano Stecia lwe yeesozze, waakuvuganyiza ku bwannamunigina. Ekifo kino kirimu Shamim Malende owa NUP era ng’ono ekifo kino akyakyagala wadde ng’ebbanga eriwerako ekisanja gye kifundikiddwa abadde mulwadde nga tasobola kutuuka mu palamenti kukiikirira bantu ba Kampala.
Eno y’ensonga y’emu eyaggyeyo ne sipiika wa Kampala, Zahara Luyirika okuvuganya ku kkaadi yeemu eya NUP ng’ayagala ekibiina gwe kiba kiwa kkaadi nti y’akyalina embavu okusobola okukiikirira abantu ba Kampala obulungi kuba talina nkenyera yonna ku bulamu bwe.