
Abatuuze okuva mu disitulikiti ezikola ebbendobendo lya Greater Mukono okuli Mukono, Buikwe, Kayunga n’e Buvuma baakungubagidde eyali ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono ow’okusatu mu kiseera nga tennaba kukutulwamu, Christopher Godfrey Kiwanuka Musisi (82) eyafa ku Lwomukaaga ekiro.
Bano beegattiddwako Minisita wa gavumenti ez’ebitundu, Raphael Magyezi eyeegasse mu kkanso ey’enjawulo eyabaddemu abakulembeze okuva mu disitulikiti y’e Mukono, Buikwe ne Kayunga okujjukira ebirungi ebyakolebwa Kiwanuka Musisi mu kiseera we yabeerera ssentebe wa Mukono okuva mu mwaka gwa 1992 okutuuka mu 2001.

Kiwanuka Musisi yava mu bulamu bw’ensi ku Lwomukaaga ekiro mu ddwaliro e Jinja ng’okusinziira ku mutabaniwe, Dr. Christopher Mayanja, abadde atawaanyizibwa ebirwadde okuli ssukaali n’omutima.
Ng’asinziira mu kkanso ey’enjawulo eyeetabyemu abakulembeze ba zi disitulikiti ezo nga yatudde ku disitulikiti y’e Mukono ku Lwokubiri, nga yakubiriziddwa sipiika w’e Mukono, Betty Nakasi, Magyezi yategeezezza nti yali mukozi ku disitulikiti y’e Mukono (yali ppulaana wa disitulikiti) mu kiseera Kiwanuka Musisi we yabeerera ssentebe.
“Kiwanuka Musisi yali mukulembeze mulungi eyakubirizanga abakozi b’atwala okwagala omulimu gwabwe era ng’agubaagazisa olw’enkwata gye yabakwantangamu ate ng’era yabakubirizanga okweyongerayo okusoma. Ndi omu kw’abo be yawa amagezi okuddayo nsome era n’asasulira ne ku nsimbi az’entambula okugendanga e Makerere okusoma. Ate nga bw’okomawo ng’akubuuza by’osomye butya bwe biyambamu disitulikiti n’abantu,” Minisita bwe yategeezezza n’agattako nti;

“Ssentebe yavanga mu woofiisi ye n’ajja mu woofiisi y’omukozi gw’aba ayagala n’abaako by’amubuuza n’okumanya okuva eri omukozi oyo, ekitatera kubaawo ng’abakulu ku ddaala eryo akutumya butumya n’ogenda mu woofiisi ye naye Musisi nga yekkakkanya okutuuka ku mutendera gwa buli omu ate nga mukkakkamu.”
Magyezi era yagambye nti Musisi olw’okwagala enfuga ennungi era eganyula abantu, yali musaale okutandika ekibiina ekigatta gavumenti ez’ebitundu ekya ULGA nga kyatandika mu 1994 nga mu kino mwe yayita ne bagatta eddoboozi ne bakulembeze banne okulaba nga bafuna empeereza ennungi okuva mu gavumenti.

Milton Kato, ng’ono yafuuka akulira abakozi ba gavumenti e Mukono okuva mu mwaka gwa 1987, nga Kiwanuka Musisi we yafuukira ssentebe ye yali mu kifo ekyo, yategeezezza nti olw’obukozi n’obukulembeze obw’enjawulo abantu bwe baali balabye mu Kiwanuka Musisi, ebisanja ebibiri bye yakulembera Mukono tebaamwesimbangako ng’ayitawo butereevu.
Asumpta Barigye agamba nti yakolera Kiwanuka Musisi ng’omuyambi we okumala emyaka 13 nga yatandika nga ssekulitale nga wa ssatifikeeti n’amukubiriza okuddayo okusoma n’afuna ddiguli kati ali ku ddaala lya bwa ddokita ow’ebitabo era asomesa mu yunivasite ez’enjawulo.
Barigye yagambye nti Kiwanuka Musisi yatandikawo enkola nga buli maka galina okulima muwogo era ebiseera ebyo, enjala eyalumanga abantu mu disitulikiti endala ab’e Mukono teyabalumanga wadde nga kino kyakoma dda.
Ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Rev. Dr. Peter Bakaluba Mukasa naye yatenderezza Kiwanuka Musisi gwe yagambye nti ye yatema evvuunike ly’okuzimba ekitebe kya disitulikiti y’e Mukono ssaako okugula ettaka yiika 51 okwali lufula e Kyetume mu ggombolola y’e Nakisunga nga n’okutuuka olwa leero lino disitulikiti ekyalikuumye.
“Olw’okulengerera ewala, kyewuunyisa nti ekitebe kya disitulikiti kye yatandika mu myaka eyo egy’e 90, kibaddewo okumala emyaka egyo gyonna nga tekiggwanga bukyanga ava mu bukulembeze ng’abakulembeze bangi abazze ne bagenda naye ng’eky’omukisa nti omwaka guno twafunye ensimvbi era tuli mu kukimaliriza,” bwe yategeezezza.
Sipiika wa disitulikiti y’e Buikwe, George Wasswa, yatenderezza Musisi olw’obukulembeze bwe yayolesa ate n’omulimu ogw’obusomesa nga kino yakyolesa bwe yawandiika ekitabo kya Kikonyogo ekyayogera ku byalo eby’enjawulo e Buikwe n’embeera z’abantu.
Kkansala akiikirira abakadde mu kkanso ya disitulikiti y’e Mukono, Asuman Muwummuza yaleese ekiteeso ekyawagiddwa kkanso nga kisiima emirimu gya Kiwanuka Musisi era n’asaba ekizimbe eky’ekitebe kya disitulikiti bwe kinaggwa kimubbulwemu olwo abaliwo n’abaliddawo basobole okwongera okumutegeera olw’ebyo ebirungi bye yakolera Uganda mu buweereza Katonda bw’amuwadde eri ensi ye.

Ate omubaka wa palamenti owa munisipaali y’e Lugazi, Stephen Sserubula, naye yasiimye Musisi olw’obutalulunkanira bukulembeze ng’abakulembeze ab’omulembe guno n’agamba nti olw’ebisanja ebibiri bye yakulembera ng’ayitamu butereevu nga tavuganyiziddwa, yalina ensonga okusigala ku kifo kino emyaka emirala 10 n’okusoba naye yasalawo n’awummula n’atalinda kusindiikirizibwa.
Omubaka wa palamenti owa munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke yagambye nti Kiwanuka Musisi y’omu ku bakulembeze abakyasinze obulungi disitulikiti y’e Mukono be yaakabeera nabo ng’era yakola naye mu budde bwe ng’ow’amawulire.
Abakulembeze Boogedde




