RDC Tiitwe (ku kkono) ng'ayogera. (File Photo)

Abakulu B’amasomero Balabuddwa Obutakemebwa Kumma Bayizi Bigezo

0 minutes, 58 seconds Read

Bya Wilberforce Kawere

Ng’abayizi ba S.4 olwa leero batandise okukola ebigezo eby’akamalirizo okwetoloola eggwanga, wofiisi y’omubaka wa gavumenti atuula e Mukono erabudde abaddukanya amasomero obutetantala kugaana muyizi yenna kutuula bigezo ng’ensonga eweebwa y’e y’okubanjibwa ebisale by’essomero.

Amyuka omubaka wa gavumenti atuula mu kibuga Mukono era atwala eby’okwerinda mu kitundu kino Rhoda Tiitwe Kagaaga ategeezezza nti omukulu w’essomero yenna Katonda gw’anavaamu n’agaana abayizi okukola ebigezo mu nsonga ezitaliimu waakugololwa ettumba.

Four Out Walukagga’s Six Children Not His, DNA Report Reveals

RDC Tiitwe akoowodde abayizi n’abazadde baabwe abagaaniddwa okutuula ebigezo okuddukira mu b’obuyinza okuyambibwa n’abo ababagaanye okukola ebigezo olw’ebisale n’ensonga endala bakwatibwe era bavunaanibwe.

Ono era ategeezezza nti basindise abawanvu n’abampi okukuuma ebigezo bino okulaba nga bitambula bulungi era nga tebibbibwa.

Constantine Mpuuga Ssajjabi nga mukungu w’ekitongole kya UNEB era akuliddemu okukuuma ebigezo mu kitundu ky’e Mukono bw’abadde ayogerako eri ab’amawulire ku kitebe kya poliisi e Mukono agambye nti ebigezo bya S.4 bitandise bulungi ate mu budde mu bitundu eby’e Mukono. Mpuuga alabudde abakwasiddwa omulimu gw’okukuuma ebigezo bino obutakemebwa kubibbira bayizi.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!