Ettendekero lya St. Benedict Technical Institute Kisubi Litikkidde 300

2 minutes, 2 seconds Read

Bya Tony Evans Ngabo

Ettendekero ly’eby’emikono erya St. Benedict Technical Institute Kisubi mu disitulikiti y’e Wakiso litikkidde abayizi abakuguse mu masomo g’eby’emikono ag’enjawulo abasobye mu 300.

Amatikkira gano ag’omulundi ogw’okubiri gakulembeddwamu Minisita wa Ssaayansi ne Ttekinologiya, Dr. Monica Musenero.

Akulira ettendekero lino Peter Kabunga Ssendi agambye nti ku bayizi 300 abatikiddwa mu masomo ag’enjawulo bakakasa bulungi nti bafunye obukugu obumala okwanganga  ebisomooza mu nsi naddala okwetandikirawo emirimu.

Ng’ayogera, Minisita Dr. Monica Musenero akawangamudde bw’ategeezezza nti ne wankubadde gavumenti etadde amaanyi n’ensimbi eziwerera ddala mu kuwagira obuyiiya mpaawo kya maanyi kikwatikako oba kirabikako kye yaafunyeemu.

Dr. Monica Musenero ng’ayogera mu kutikkira abayizi ku St. Benedict Technical Institute e Kisubi.

Dr Musenero anokoddeyo eky’omusaala omusava gavumenti gw’esasula abasomesa ba ssaayansi okukira ku bannaabwe aba ‘arts’ wabula n’agamba nti wadde ebyo byonna bikoleddwa, gavumenti etandise okupondooka olw’okulwawo okulaba ku bibala ebiva mu kino.

Ono agamba nti  wadde balina essuubi nti bannasaayansi basobola okukozesa amagezi n’obukugu ne babeerako okuyiiya ebintu eby’enjawulo ebiyinza okuteeka eggwanga ku mutindo, kino tekinnavaayo bulungi ng’ebintu ebisinga eggwanga ate libifuna kuva mu mawanga g’ebweru nga mpaawo banasaayansi kye baayiiyirizza nsi yaabwe.

Dr Musenero bino abyogeredde ku matikkira g’ettendekero lya St. Benedict Technical Institute Kisubi mu disitulikiti y’e Wakiso ag’omulundi ogw’okubiri n’agamba nti bakoze kyonna ekisoboka okuwagira ebya ssaayansi ne ttekinologiya  naye nga balinga abakootakoota mu ga lumonde kubanga ekigendererwa ekikulu omuli okutondawo amakolero amapya agesigamye ku bakugu Bannayuganda aganaayamba okwongera ku nnyingiza y’abantu mu Uganda n’okuyita mu kutondawo emirimu kikyagaanidde ddala .

Dr Musenero era attegezezza nti kati gavumenti egenda kutandika kaweefube ow’okutendeka abasomesa mu matendekero ag’enjawulo okufuna obukugu obw’enjawulo mu by’amakolero n’obuyiiya  kubanga bakizudde nga bangi nabo bakoma kubisomako mu bitabo.

CPA Godfrey Kawanguzi Deputy Executive secretary mu kitongole ekivunanyizibwa ku bigezo eby’amatendekero aga waggulu ekya UBTEB yasabye abazadde mu kadde kano okubeera abakalabakalaba nga beewala okutwala abaana baabwe mu matendekero agatawa bayizi mukisa  kukola bigezo bya ggwanga eby’ekitongole ki UBTEB nti kiviiriddeko bangi okulemwa okweyongerayo n’emissomo gyabwe mu yunivasite.

Ate omubaka wa Busiro South mu palamenti Charles Matovu asabye abayizi abafuluma mu ma ttendekero okukimanya nti eggwanga teririimu mirimu wabula bafube okulaba nga beetandikirawo emirimu egyabwe ng’abantu emitonotono.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!