Abasuubuzi abakolera mu katale k’e Kajjansi mu disitulikiti y’e Wakiso ababadde bamaze ebanga erisoba mu myaka ebiri bukyanga akatale kano kookebwa omuliro bafunye ku kaseko ku matama bwe kazzeemu okuggulwawo.
Bano bagamba nti balina essuubi nti bagenda kufuna ku nsimbi mu ssizoni y’ennaku enkulu eyatandise edda oluvannyuma lwa ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia Lwanga Bwanika okuggulawo akatale kano abasuubuzi baddemu okukkalabya emirimu gyabwe.
Church of Uganda Priest Accepts Killing His Wife, Sentenced to 12 Years
Abasuubuuzi bano bategeezezza omusasi wa Kyaggwe TV nti babadde bayita mu kiseera ekizibu naddala mubiseera by’enkuba mu mbeera y’okweyiiya gye babadde bakoleramu ebbanga eryo lyonna.
Ssemwogere Sonny ssentebe w’akatale kano aka Kajjansi Daily Market asabye disitulikiti okwongera okubayambako ku nsonga y’amasannyalaze ne kasasiro gw’abagamba nti abamuyoola n’abakola ku masannyalaze babasolozaako ensimbi nnyingi.
Ssentebe wa disitulikiti Dr. Bwanika bw’abadde aggulawo akatale kano alabudde abasuubuzi okwewala engambo kibayambeko okwekolera ensimbi awatali kutataganyizibwa.
Parents Urged to Consider Religious-Based Institutions for Quality Workers