Ab’e Buikwe Batutte Amakula ga Kabaka

1 minute, 39 seconds Read

Omumyuuka w’ekitongole kya bulungibwansi n’obulambuzi atwala amagombolola okuli Buikwe, Ngogwe, Nyenga, Najjembe ne Kawolo era nga ye ssentebe Nkokonjeru Town Council, Ssentongo Ssali Kezaala akunze Abaganda n’abantu abawangaalira mu Buganda okuva mu tulo batandike okukola naddala ebyo ebiba bibalagiddwa mu nteekateeka ya bulungibwansi.

Ssentongo agamba nti eno y’ekola yokka enaasobozesa Buganda okusobola okutuuka ku ntikko. Bino abyogedde mu mboozi ey’akafubo ne Kyaggwe TV bw’abadde akulembeddemu abantu ba Kabaka okuva mu Ggombolola y’e Nkokonjeru kwe beetikidde amakula ga Beene, nga baakulembeddwa omwami wa Ssaabasajja atwala e Ggombolola ya Ssaabawaali Buikwe, Omukyala Josephine Nanjebe.

Nambooze’s Seat Attracts Tough Challengers Come 2026

E Mbuga, Bannakyaggwe bano amakula ga Beene gabatikkuddwa Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitooleko nga y’akiikiridde Katikkiro, ng’ono abasabye okukola ennyo wamu n’okusabira Beene Lugaba amwongere embavu n’amagezi okukulembera n’okulungamya abantu be aba Buganda.

Ssentongo akubirizza Abaganda okunnyikiza enkola ya Bulungibwansi nga basookera mu mpya zaabwe, nga bazimba obutandaalo, amafumbiro, zi kaabuyonjo wamu n’okukola enguudo, n’okulima emmere ebamala ssaako gye bafissaawo okutunda basobole ate okwefunira ku jjamba eribayamba okweyimirizaawo, okusomesa abaana n’okwejjanjaba mpozzi n’okutereka okusobola okweyamba mu kwekulaakulanya.

Ono era akunze Bannakyaggwe okwettanira olunaku lwa bulungibwansi olwa Kyaggwe, olugenda okubaawo ng’ennaku z’omwezi 5 omwezi ogujja, ng’emikolo gya kubeera ku mwalo e Katosi.

“Ogumu ku miramwa emikulu ku lunaku luno gugenda kuba kujjukira ameefuga ga Buganda. Tuteekateeka kusimba emiti 35,000, nga buli ggombolola lisuubirwa okusimba endokwa z’emiti 2,500,” bw’annyonnyodde.

Ye Ssaabaganzi Ssekitooleko agambye nti abantu ba Ssaabasajja kibakakatako okumanya nti be balina obuvunanyizibwa okukolera Beene n’okumuyimirizaawo nga batuukiriza obuvunaanyizibwa bw’okuwaayo oluwalo wamu n’amakula.

‘Kabaka, talima, takola era tasaka; n’olw’ekyo ffe abantu be ffe tulina obuvunaanyizibwa okumuyimirizaawo naddala nga tuyita mu kunnyikiza amakubo omuva ensimbi n’okulima emmwanyi wansi w’entegeka y’emmwanyi terimba,’ Ssaabaganzi bw’akkaatirizza.

Politicians Turn Church Service into a Political Rally

Munnamateeka wa NUP George Musisi Ajunguludde Eby’okwesimba ku Ssemujju e Kira

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!