Ab’akakiiko akatakabanira okulwanirirra eddembe ly’obuntu mu disitulikiti y’e Wakiso bavuddeyo ne bavumirira ebikolwa ebyakoleddwa olunaku lw’eggulo ab’ebitongole by’eby’okwerinda eby’enjawulo kw’omu ku baawandiisiddwa okuvuganya ku kifo ky’okujjuza ekifo ky’omubaka wa palamenti owa Kawempe North Erias Luyimbaazi Nalukoola ne ku w’amawulire wa Top TV Miracle Ibrah.
Nalukoola yatulugunyiziddwa ab’eby’okwerinda abaamukubye ne bamwambula oluvannyuma ne bamuwamba ne bamubuzaawo mu mmotoka ekika kya Drone ng’abaakoze kino basirikale abalwanyisa obutujju.
Mu kavuvungano kano, munnamawulire wa Top TV we yakubiddwa ne bamwasa eriiso nga mu kiseera kino ali mu ddwaliro apooca mu bulumi obutagambika.
Elly Kasirye, ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Wakiso agamba ab’eby’okwerinda okutulugunya bannamawulire kikolwa kya kutyoboola ssemateeka w’eggwanga avunaantizibwa ku kutaatira eddembe ly’obuntu omuli n’embeera abantu mwe bakolera.
“Kikyamu gavumenti okutegeka okulonda ate n’eyimbula abasirikale okuva mu bitongole ebirina okulwanyisa abatujju n’ab’amagye abalina okubeera mu gw’okulwanirira obutebenkevu bw’eggwanga abazze basiwuuka empisa enfunda eziwera ne badda ku bantu abatalina musango ne babatulugunya n’okubatusaako obubune nga bwe gwabadde e Kawempe,” bw’annyonnyodde.
Kasirye mu ngeri y’emu awadde gavumenti amagezi okusaawo enkola esobozesa Bannayuganda okukkiririza mu kalulu okwewala obwegugungo obuyinza okuddirira ng’okulonda tekutambudde bulungi.
Wadde Nalukoola yawambiddwa nga mutujju, ono yamaze n’ayimbulwa era n’ayogera eri ab’amawulire n’abawagizibe.