Parish Chief N’abalala Babiri Basuze Ku Poliisi Lwa Kubulakanya za PDM

RDC w’e Wakiso, Justine Mbabazi alagidde poliisi n’ekwata ‘parish chief’ n’abalala babiri ng’entabwe eva ku kubulankanya sente za PDM.

Bano okukwatibwa kiddiridde abatuuze mu muluka gw’e Nakabugo mu ggombolola ya Wakiso-Mumyuka okubalumiriza nga bwe baabawa ssente za PDM ez’ebitundu kyokka ate ne babasaayiningisa ssente ndala ezisinga kw’ezo ze baafuna ekiggye RDC Mbabazi mu mbeera n’alagira bakwatibwe.

RDC Mbabazi ng’ayogera eri abatuuze.

Abakwatiddwa ye w’omuluka guno Nalugwa Jannie, Lwanga Vincent ssentebe wa Bulenga Meat dealers wamu ne Nakyejwe Hajara owa Nankuwadde banana dealers nga bano batwaliddwa ku poliisi y’e Bulenga bannyonnyole gye baateeka ssente za gavumenti.

Bino byonna bibadde mu lukiiko olwayitiddwa RDC ku kyalo Bulenga ng’abakwate bategeezezza nga bwe balangibwa obwemage nga ekizibu kyava waggulu mu bakama baabwe nga be baabalagira okugaba ensimbi ez’ebitundu.

RDC Mbabazi agamba nti bakooye ekkobaane ly’abakozi ba gavumenti okubba ensimbi z’abawejjere nti ssibaakuttira muntu yenna ku liiso anaasangibwa nga yeenyigira mu bubbi n’okubulankanya ssente za PDM.

Abantu 157 be baawebwa ensimbi zino ku mutendera ogwa sooka mu muluka gw’e Nakabugo wabula 17 bokka be basobodde okujja mu lukiiko luno ekyongedde okussaawo ebibuuzo ebiyitirivu oba oba nga ddala n’abantu 157 abalagibwa mu biwandiiko gyebali oba nga nabo ba mpewo?

 

 

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!