Amasomero Gapaaluusizza Ffiizi Ku Bagenda mu S5-Agamu Gasabye Obukadde Busatu

2 minutes, 45 seconds Read

Oluvanyuma lw’okusunsula abayizi abagenda mu S5 okuggwa, agamu ku masomero amagundiivu gafulumizza ebisale kwe gagenda okuyingiriza abayizi mu S5. Wabula ebisale bino birese bangi nga bakutte ku mimwa, n’abamu tebamanyi oba abaana baabwe banaasobola okusoma olw’embeera y’eby’enfuna eya kanaayokya ani egenda mu maaso mu ggwanga.

Mu masomero agasinze okupaluusa ebisale g’ego agali mu masekkati g’eggwanga, ne gaddirirwa ag’e bugwanjuba, e buvanjuba n’obukiikaddyo.

Ebisale mu masomero gano okutwalira awamu biyimiridde bwe biti ssomero ku ssomero: Ku St. Mary’s Kitende erisangibwa mu Wakiso basabye sh3.3m, ate e Nabisunsa Girls mu Kampala baagala obukadde busatu (sh3m). Bo aba Kawempe Muslim n’aba Gayaza High School buli limu lyagala sh2.6m, sso nga mu King’s College Buddo ebisale biyimiridde ku sh2.5m.

Mukono CAO, Headteachers In Trouble For Abuse Of Office, Financial Misconduct

Amalala gagerese bwe gati ebisale by’abayizi ba ssiniya eyokutaano:

Ntare School e Mbarara – sh2.3m

Kibuli SSS – sh2.3m

St. Henry’s College Kitovu – sh2.1m

Mengo SSS – sh2.1m

Iganga Secondary School – sh1.8m

Immaculate Heart Girls’ School Rukungiri – sh1.5m

Maryhill High School Mbarara – sh1.5m

Wabula ebisale bino ffiizi zokka okutali byetaago birala. Agamu ku masomero gano gagamba nti gakuumidde ebisale wansi okusobozesa Bannayuganda bangi okufuna okusomesebwa, sso ng’era gaagala okutwala abayizi bangi ddala obutaleka muntu yenna mabega wa kuyigirizibwa.

MENTAL HEALTH: The Need For Counselors in Schools

Okusinziira ku byafulumizibwa ekitongole kya UNEB eby’ava mu bigezo bya S4 eby’omwaka 2024, abayizi abawerera ddala 358,271 baafuna ebisaanyiizo ebibasobozesa okweyongerayo mu madaala agaddako okuli haaya n’amatendekero ag’eby’emikono n’amalala agagwa mu kkowe eryo.

Ku bano, abayizi 186,991baayingiziddwa mu masomero gye bassa enkizo nga basaba ebifo, sso ng’abayizi 76,279 baayigiziddwa gye bassa okusaba okw’okubiri.

Ng’okusunsula abayizi kugenda mu maaso, Minisita omubeezi ow’eby’enjigiriza ebya waggulu, Dr. John Chrysostom Muyingo yasabye abakulira amasomero okukwatirwa abazadde ekisa ku nsonga z’ebisale, n’agamba nti abamu ku bakulu b’amasomero batuuka n’okupangisa abaserikale ku miryango okutangira abazadde abatamazeeyo bisale kuyingira. Yabajjukizza nti abazadde n’abaana baabwe y’ensonga egguzzaawo amasomero gaabwe.

Ate kkaminsona w’amasomero ga ssiniya Juliet Muzoora yasabye amasomero okussaawo embeera y’okuyiga ey’emirembe, n’abakubiriza okussa amaaso ku baana abalina obulemu ku bwongo, nti kubanga okuva ekirwadde kya COVID 19 lwe kyabalukawo, ekitognole kibadde kisisinkana obuzibu obutagambika olw’abaana abagwa mu ttuluba lino.

Mt. Lebanon Church Vs United Methodist Church: Omulamuzi Asaze Omusango Guno Aba Mt. Lebanon ne Bacacanca

“Mu ngeri y’emu mwewale okussa essira ku by’okuyiga ebyomu kibiina byokka naye mulowooze ku by’emizannyo kubanga nabyo kitundu ku byetaago by’okuyiga kw’omwana,” Kaminsona Muzoora bwe yakkaatirizza.

Ssentebe w’olukiiko olusunsula abayizi, Dr. Jane Egau yasabye amasomero okulekawo ebifo by’abayizi UNEB be yakwatira ebibuuzo.

Wabula amasomero ageetabye mu kusunsula gaagambye nti weewaawo omulimu gubadde munene naye ate gusinzeeko emabega kubanga kibadde kyangu okumanya omuteeko gwa buli muyizi gw’agenda okukola olw’entegeka y’ebiyigiribwa empya. Bagasseeko nti ebikozesebwa ebitamala byaleseewo obuzibu olw’omuwendo gw’abayizi ogwabaweereddwa minisitule.

Akulira eby’enjigiriza muTrinity College Nabbingo, Bright Kasozi yagambye nti okusunsula kwa luno kwayawukanyeeko ku kwa bulijjo kubanga kuno kwesigamiziddwa ku nsomesa empya, ey’okusengeka okuyita kw’abayizi mu nkola eya ‘A’, ‘B’, eteri nnyangu nnyo.

Amyuuka omukulu w’essomero lya Iganga Secondary School David Balikweya naye yaggumizza obuzibu bw’okusunsula abayizi olw’ensomesa empya okwesigamiziddwa enkola ku mulundi guno.

A-Level Curriculum: NCDC Retains All Subjects, Removes Overlaps, Drops Irrelevant Topics

 

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!