Bp. Kagodo ng'ayogera mu lukungaana lw'amawulire.

Obulabirizi Bugaanye Omukulu W’essomero Minisitule Gwe Yabusindikidde

2 minutes, 18 seconds Read

Obulabirizi bw’e Mukono bugaanye era ne bugoba omukulu w’essomero omuggya agambibwa nti minisitule y’eby’enjigiriza gwe yasindise okudda mu bigere by’akulira essomero lya Mukono High School ng’ono yatuusizza emyaka egiwummula emirimu gya gavumenti.

Fredrick Kawumi Mbaziira ye mukulu w’essomero lya Mukono High School aliwo mu kiseera kino ng’ate minisitule gwe yabadde asindiseeyo ye Richard Katongole ng’ono mu kiseera kino y’omu ku bamyuka b’omukulu w’essomero lya Bishop Senior School e Mukono.

Ng’ayogera mu lukungaana lw’amawulire lw’atuuzizza ku kitebe ky’obusaabadinkoni bw’e Mpumu mu Ntenjeru-Kisoga tawuni kkanso mu disitulikiti y’e Mukono, Omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo avuddeyo mu bulambulukufu n’ensonga lwaki baasazeewo okugoba omukulu w’essomero omupya.

Omulabirizi Kagodo agamba nti ono yabatuusaako ebbaluwa emusindika ku ssomero mu mwezi gwa May nga n’obudde bwa Kawumi obuwummula ku nkomerero ya August tebunnatuuka.

“Nze kennyini nnawandiikira Minisitule y’eby’enjigiriza nga ngitegeeza nti olw’okuba Kawumi yali aweza emyaka egiwummula ku nkomerero ya August, twali tusazeewo ne tusaba aweebwe emyezi ng’ena gyokka asobole okutwaliriza abayizi abakole ebigezo byabwe eby’akamalirizo olwo aweeyo woofiisi ku nkomerero y’olusoma olwa ttaamu ey’okusatu. Nnina essanyu nti wadde minisitule yalwawo okutuddamu, wiiki ewedde yatuwandiikidde ng’ekkiriza okusaba kwaffe era minisita yatuwadde amagezi okugenda eri omuwandiisi wa minisitule ow’enkalakkalira tumuwe amannya g’abo be tutunuulidde okudda mu bigere by’omukulu w’essomero lino bbo kwe banaalonda,” omulabirizi bw’ategeezezza.

Agasseeko nti; “Tetuyinza kukkiriza bantu beegwanyiza ssomero lyaffe nga tetubategeera na bulungi nga tebagoberedde na mitendera. Bangi balyegwanyiza naye bambi lirina okubeera n’omukulu w’essomero omu, n’olw’ekyo tetulina kyakubakolera. Ffe mu bulabirizi bw’e Mukono tetuyinza muntu kumala gagenda mu ssomero lyaffe ddene bwe liti nga tetumaze kumwekenneenya na kumukkanyaako.”

Agamba nti ng’abatandisi b’essomero, baba balina okwebuuzibwako ku mukulu w’essomero asindikibwa mu ssomero lyabwe nga ku kya Katongole ekyo minisitule teyakikola nga n’olw’ekyo, tebayinza kukola nsobi yonna kumukkiriza.

Ate amyuka ssentebe wa bboodi efuga essomero lya Mukono High School, Daniel Luutu naye aliko by’atulambululidde ng’agamba nti waliwo ebitali birambulukufu ku kya minisitule okubaweereza Katongole nga nabo kwe basinzidde okumugoba.

Luutu agamba nti bagenda kugoberera emitendera olwo batuule ne minisitule bakkaanye ku mukulu w’essomero gwe banaabawa sso ssi buli alyegwanyiza nti bagenda kumukkiriza.

Agamba nti baasaba Kawumi aweebwe ekiseera amalirize olusoma lw’omwaka guno olwo alyoke aweeyo essomero eri omuntu omutuufu, obulabirizi ne minisitule gwe banaaba bakkaanyizzaako.

Mukono High School ssomero lya ssiniya eriweza abayizi 2500 nga lya bonnabasome owa ssekendule nga lye lyokka eriri ku musingi gw’ekkanisa eriri mu kibuga Mukono.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!