Kigambibwa nti Ssenyonga ne Ssenyonjo okuva ku poliisi baasitudde basitule ne babateeka ku bodaboda ezaabavuze okubatwala ku poliisi e Mukono ng’ebiri ku nsi tebakyabimanyi nga bayitiirira buyiriitizi.
Amaziga gayunguse abawagizi b’eyali ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono Andrew Ssenyonga mu kiro ekikeesezza olwa leero oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okukubibwa kwe okuva eri abakuuma ddembe n’asigala nga takyamanyi na biri ku nsi.
Ssenyonga yakubiddwa abasirikale ku poliisi y’e Mukono ssaako mugandawe, kkansala w’abavubuka ku disitulikiti y’e Mukono Lauben Ssenyonjo ng’ababiri bano baaddusiddwa ku ddwaliro lya Mukono Church of Uganda nga tebakyamanyi biri ku nsi.

Oluvannyuma lw’abasawo okugezaako okubaako kye bakola ng’embeera yaabwe yeeyongera kubeera bubi, bano batekeddwa mu ambulensi ne zibongerayo mu malwaliro agasingako e Kampala.
Entabwe yavudde ku kukwatibwa kw’eyakuliddemu okulonda kwa NRM mu ggombolola y’e Goma eyategeerekeseeko erya Joseph mu kiro ng’ono kigambibwa nti yabadde yeenyigidde mu kukyusakyusa ebyavudde mu kulonda ng’ayagala okulaga nti Ssenyonga ye yafunye obuwanguzi.
Oluvannyuma lw’okukitegeerako nti ono yabadde akwatiddwa poliisi ku biragiro by’eyakuliddemu okulonda e Mukono, Stephen Nakabaale, Ssenyonga mu kiro ssaawa nga nnya yakuze abawagizibe okugenda ku poliisi okulaba lwaki ono yabadde akwatiddwa.

Eno abasirikale ababadde mu kibinja ekyaweredde ddala gye baabasaliddeko ne babakuba ne babaleka ne mu kkubiro.
Kigambibwa nti Ssenyonga ne Ssenyonjo okuva ku poliisi baasitudde basitule ne babateeka ku bodaboda ezaabavuze okubatwala ku poliisi e Mukono ng’ebiri ku nsi tebakyabimanyi nga bayitiirira buyiriitizi.
Stephen Kiggundu, akulira NRM mu Mukono Central division yavumiridde obukwambwe obwatuusiddwa ku bawagizi ba NRM okuva eri abakuuma ddembe n’agamba nti ebikolwa nga bino bye bimu ku byongedde okukyaya NRM naddala wano mu Buganda.
Wabula mu kwogerako naye ku lukomo lw’essimu, amyuka RDC w’e Mukono, Hassan Kasibante ategeezezza nti oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okukubibwa kwa Ssenyonga n’abalala okuli n’ab’amawulire, yayise ab’eby’okwerinda ne bamutegeeza ekyavuddeko bino.
Kasibante agambye nti bano kyabagwanidde kuba baalumbye poliisi nga babagalidde emiggo n’ebiso nga baagala okukola obulabe ku basirikale ekitali kituufu.
Wabula ebigambo by’amyuka RDC Kasibante abbaaddewo babisambazze ne bagamba nti si bituufu era ne bamwewuunya omuntu omukulu ku ddaala eryo okumala googera nga tamaze kusengejja by’ayogera!
Ssenyonga abadde attunka ne Dr. Daisy Sarah Ssonko, ng’ebyavudde mu kulonda kwa bano oluvannyuma lw’emivuyo egyo tebyategeerekese.